Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Dr. Winfred Nabisinde agaanye okusaba kw’eyavuganya mu kalulu ka Busiro North aka 2021, Edgar Lubadde mwe yali ayagalira okuwaayo obujulizi obupya obwoleka nga munnakibiina kya NUP, Paul Nsubuga bw’atasaanidde kubeera mubaka wa kitundu kino.
Kino kiddiridde bannamateeka ba Lubadde okuleeta ensonga empya ezira ng’omubaka omulonde owa Busiro North bwe yajingirira emikono gy’abantu be yakozesa okumusemba, asobole okwesimba ku kifo kino.
Bannamateeka bano baategeezezza kkooti nti balina obujulizi obupya omwabadde n’ebbaluwa y’omukugu wa poliisi eyakola okunoonyereza n’akizuula nti emikono gino gyali mijingirire era nga baali baagala kkooti ebakkirize babugatte ku bwe baamala edda okuwa kkooti.
Kino kkooti ekigaanye ng’egamba nti ensonga ezibadde zinokoddwayo zibadde zireetawo ensonga empya ezitaali mu mpaaba yaabwe eyasooka.
Dr. Nabisinde annyonnyodde nti obudde bw’abadde buweddeyo nga noolwekyo abadde tasobola kukkiriza kusaba kwa bano.
Lubadde eyafuna obululu 199 ate Nsubuga n’afuna obululu 21400 ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nsubuga ng’amulanga okujingirira empapula z’obuyigirize ze yawa akakiiko k’ebyokulonda ng’agenda okwewandiisa.
Ono alumirizza nti amannya g’omubaka ono amatuufu ye Mukalazi Peter nga mutabani wa Mathias Kibuuka ne Agnes Nabawanuka ab’e Kakooge Ssentema, mu ggombolola y’e Kakiri mu Wakiso so si Paul Nsubuga nga bw’ayagala okulimba ensi.