
Bya Ssemakula John
Njeru – Kyaggwe
Ttiimu y’essaza Buluuli yatandise bulungi empaka z’amasaza ga Buganda ez’omwaka guno bwe yakubye Kabula goolo 5 – 2 mu mupiira ogwazannyiddwa eggulo ku Ssande.
Omupiira guno ogwabadde guweerezebwa obutereevu ku BBS Terefayina, gwazannyiddwa ku kisaawe ekya FUFA Technical Centre e Njeru.
Ggoolo za Buluuli zaateebeddwa abasambi okuli; John Paul Ndembe yateebye ggoolo 2, Ibrahim Farid Ssekyanzi nga naye yateebye goolo 2 ne Johnson Ssenyongo eyateebye ggoolo endala.
Ate ggoolo za Kabula zaateebeddwa omuzannyi Martin Sseguya mu ddakiika eye 81 n’eye 90 .
Buluuli kati y’ekulembedde ekibinja Masengere ng’erina obubonero 3 ne ggoolo 4, Kyaddondo n’eddako nga nayo erina obubonero 3 ne goolo 2 olwo n’endala ne zigoberera.
Empaka zino kati zigenda kuddamu okuzannyibwa ku Lwokubiri lya ssabbiiti ejja era Ssingo egenda kuttunka ne Kyaddondo n’ogwa Kabula ng’ettunka ne Gomba.









