Bya Ndugwa Francis
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kakakasizza nga buli kimu bwe kiwedde okwaniriza n’okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti mu nteekateeka eno etandise leero okutuuka enkya ku Lwokubiri.
“Enteekateeka eno egenda kumala ennaku bbiri, era tusuubira abo bonna abasobodde okuyita ku mutendera ogusooka ogw’okuweza emikono egibasemba okwewandiisa. Buli omu aweereddwa olunaku n’essaawa era tubasuubira okujja beewandiise.” Ssentebe w’akakiiko Simon Byabakama bwe yagambye eggulo ku Ssande.
Byabakama yategeezezza ng’abantu b’abeesimbyewo basatu balamba bwe baazuuliddwamu ekirwadde kya Ssennyiga Corona era nga n’olwekyo bano tebajja kukkirizibwa kuwerekera ku bantu baabwe nga bwe baabadde bategese.
Byabakama yasabye abeesimbyewo wamu n’abagenda okubawerekerako okulaba nga bakuuma ebiseera kiyambe okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Enteekateeka nga bw’eri
Okusinziira ku nteekateeka eyafulumiziddwa ab’akakiiko k’ebyokulonda, Pulezidenti Museveni era munnakibiina kya NRM, y’agenda okusookawo leero ku ssaawa 4 ez’okumakya.
Ono agenda kuddirirwa Henry Tumukunde atalina kibiina nga waakuwandiisibwa ku ssaawa musanvu, olwo John Katumba addeko ate oluvannyuma bawandiise Pulezidenti wa Alliance for National Transformation (ANT) Mugisha Muntu ku ssaawa 3. Ate Nancy Kalemba Linda y’agenda okusembayo ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Enkya ku Lwokubiri, akakiiko kagenda kutandikira ku munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi ku ssaawa 4 ez’okumakya, ku ssaawa ttaano bawandiise Willy Mayambala.
Ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu, munnakibiina kya Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat awandiisibwe ku ssaawa 12 ez’olweggulo, Fred Muwesigye atalina kibiina addewo ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu ate Munnabyamizannyo Joseph Kabuleta baamukoleko ku ssaawa mwenda .
Tekinnamanyika oba munnakibiina kya Democratic Party, Nobert Mao, eyawaddeyo emikono ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti ewedde, anaawandiikibwa akakiiko k’ebyokulonda ng’olunaku lw’enkya terunnaziba.