• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda yeeyamye okwongera okutaasa obutonde

Gambuuze by Gambuuze
May 25, 2021
in Amawulire
0 0
0
Buganda yeeyamye okwongera okutaasa obutonde
0
SHARES
104
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okwongera okukolagana ne gavumenti eyaawakati okwongera  okukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi obwongera okusaanawo buli lukya.

Bino byogeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo, bw’abadde atongoza Ssabbiiti y’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka n’okugaba endokwa z’emiti eri abaami b’amasaza ezigenda okusimbibwa  ku mbuga zaabwe ku mukolo oguyindidde ku mbuga enkulu e Bulange-Mmengo. Enteekateeka eno etambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Twagale obutonde bw’ensi.”

“Tetulina kutunula butunzi naye tulina okukozesa ensi eno Katonda nga bwe yagituwa naffe abaliwo ne tusobola okugyeyagaliramu, abanajja mu maaso basobole okugisanga ng’ekyali bulungi. Akabaate ke tulina kwe kuba nti tweyongera obungi ate nga we tuli wafunda.” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.

Akunze abantu ba Buganda okwenyigira mu nteekateeka zino zonna ezitaasa obutonde kuba twolekedde okugwa mu kabi kano omuli amataba n’omukka omubi Uganda efuukire ddala eddungu.

Ono asabye gavumenti okuzza ebibira ebiri ku ttaka lya Buganda basobole okwongera okubikuuma kuba bingi bisaanyiziddwawo kuba abantu beeyongedde kyokka ng’ettaka kwe balina okuwangaalira lisigadde nga bwe lyali. Omukubiriza w’abataka,  Augustine Mutumba, ategeezezza nti omusomo guno gukwata ku nsonga enkulu ey’okukuuma, okutaasa n’okuzzaawo obutonde bw’ensi.

Ono akunze abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka eno kisobozese okukuuma obulungi obutonde abaana n’abazzukulu basobole okubusanga.

“Tuzze wano okwekebera n’okwefumiitiriza ku buvunaanyizibwa bwaffe eri obulungi bw’ensi yaffe ng’essira tulitadde ku butonde bw’ensi Katonda bwe yatuwa.” Jjajja Mutumba bw’agambye.

Ono alaze okunyolwa olw’okusaanyaawo ebibira awamu n’okwonooneka kw’obutonde bw’ensi naddala wano mu Buganda nga kino kivudde ku kyakubeera nti Buganda y’entabiro ya buli kimu naddala enkukulaakulana.

“Ffenna tukimanyi bulungi nti ennono, obuwangwa n’embeera zaffe wano mu Buganda bya butonde era toyinza kwawukanya bantu ba Buganda ku butonde ng’emiziro omuli ebimera, ebyennyanja awamu n’ebisolo so nga n’empewo ez’obuwangwa ziwummulira mu butonde bw’ensi.” Namwama bw’ategeezezza.

Jjajja Namwama asabye abakulembeze mu Buganda boogere okusomesa abantu ku bukulu bw’obutonde bw’ensi era basimbe emiti ku mbuga z’Obwakabaka, mu maka, ku biggwa, era emiziro mu bimera n’ebisolo ebirundibwa bikuumibwe bireme okusaanawo.

Minisita w’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka, Mariam Nkalubo Mayanja, ategeezezza nti obutonde bw’ensi bwe buwangwa bw’Abaganda kuba ebika byabwe ebisinga bikwatagana butereevu n’obutonde bw’ensi.
Nkalubo asabye abantu okujjumbira okusimba emiti ginnansangwa kisobozese okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.
Akwasaganya eby’entobazzi mu Buganda, Nicolas Magala, ategeezezza nti wadde amakolero galina omugaso naye galina kukwatibwa bulungi galeme kusaanyaawo ntobazzi kuba bangi ku bantu tebamanyi mugaso gwazo so ng’obulamu bw’omuntu kwe buyimiridde.

Oluvannyuma abakulembeze, bajjajja abataka n’abaami ba Kabaka babanguddwa ku  butonde bw’ensi   omuli emigaso gyabwo, engeri y’okubukuumamu n’ebirala. Abakugu okuva mu  minisitule ey’amazzi n’Obutonde bw’ensi  mu gavumenti eyaawakati  be beeyigidde mu musomo guno era guno guguddwawo Omutaka Namwama.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.