
Bya Ssemakula John
Munyonyo – Kyaddondo
Obwakabaka nga buli wamu n’aba Habitat for Humanity, bw’anjudde enteekateeka etuukiddwako nga bazimbira abeetaaga okubeerwa amayumba okusitula embeera zabwe nabo basobole okweyagalako.
Enteekateeka eno eyanjudde Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa eggulo ku Lwokutaano ku Speke Resort e Munyonyo mu lukungaana olw’ amayumba, era nga Minisita w’ebyettaka n’amayumba, Judith Nabakooba yabadde omugenyi omukulu.
Minisita Nabakooba mu kwogera kwe agumizza abantu nga gavumenti bwereeta etteeka ku mayumba agasulwamu okusobozesa abantu okugasasula ensimbi entonotono, nga ne banannyini go basigala bafunamu.
Ono yeebazizza enteekateeka y’olukungaana luno olwagasse abakugu ab’enjawulo mu by’okuzimba, ne bakubaganya ebirowoozo ku nsula y’abantu n’engeri ey’okubawonya omugotteko.

Ye Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika nga ye Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku nteekateeka ey’okubeerwa kw’abantu mu Buganda, Owek Robert Waggwa Nsibirwa ku lw’Obwakabaka ayanjudde ebituukiddwako mu nteekateeka y’okubeera abantu eyatandikibwa Beene mu 2019.
Oluvannyuma asabuukuludde enteekateeka y’Amaka Amalungi, Akalo Amatendo empya ey’okuzimba ennyumba 25 – 50 buli mwaka, ng’Obwakabaka bwa kusonda ensimbi okuva mu buli ggombolola nga bazimbira abantu baabwe ennyumba.
Obwakabaka era busuubira okukolagana n’obukulembeze obw’ennono obulala okubunyisa enkola eno mu Uganda yonna.
Owek. Waggwa abantu okukuuma obutondebwensi kuba amaka tegasobola kuba malungi ng’Obutondebwensi bufu.
Ye Minisita Omubeezi ow’ amayumba Persis Namugaza akkaatiriza obukulu bw’okufuna awasulwa nga walungi, ate n’okukuuma obutondebwensi obwetoolodde amayumba gaffe.
Omukolo gwetabiddwako; Oweek. Amisi Kakomo, Oweek. Charles Kiberu Kisiiriza, Bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka n’abantu abalala bangi nnyo.









