Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Minisita avunaanyizibwa w’ettaka, eby’obulimi, Bulungibwansi n’Obweggasi agambye nti Buganda yakugenda mu maaso n’okukola emikago n’ebitongole ebyenjawulo okusobola okutumbula embeera z’abantu mu Buganda nokubagobako obwavu.
Owek. Nkalubo agambye nti abantu bakabaka bateekeddwa okwetanira enteekateeka ez’enjawulo mu Bwakabaka okusobola okukyusa embeera zabwe. Owek. Nkalubo asabye abantu bakabaka okubeera abayonjo okusobola okwewala eddwade eziva ku buligo.
Okwogera bino Minisita Mayanja abadde ku kyalo Kasala mu Muluka gwe Kyabakadde mu ggombolola ye Kyampisi bw’abadde akwasa Evelyn Nakyazze Birabwa ennyumba eyazimbibwa Ssaabasajja Kabaka ne bannamikago okuli Habitat for Humanity ne Housing Finance Bank.
Ssaabasajja Kabaka yasiima okukyuusa embeera y’omukyala Evelyn Birabwa eyali tesanyusa kuba yali yafiirwako bba agambibwa okuba nti yabulira mu nnyanja nasigala n’abaana abato abawera bataano mu nnyumba ekutte mu mbinabina.
Bw’abadde akwasibwa ennyumba eno, Evelyn Birabwa abadde omusanyufu yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima namuwa obulamu obweyagaza era nasaba abantu okuwagira Obwakabaka.
Abakulira ekitongole ki Habitat for Humanity bategeegezeza nga bwebalina enteekateeka y’okwongera okudduukirira abantu bakabaka abalina okusomoozebwa mu mbeera ezenjawulo.