Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Omulamuzi Esther Katimbo Kisakye, yategeezezza nti Buganda bwegenda okulwanirira abantu abasembayo wansi naddala abatalina nsimbi zakusasula bannamateeka.

Omulamuzi Kisakye bino yabyogedde aggulawo wofiisi ya Buganda ey’ebyamateeka etuumiddwa ‘Buganda Royal Law Chambers’ mu bimuli bya Bulange ku Lwokutaano .
“Wofiisi eno yalwawo okutuuka kubanga eguddwawo mukiseera nga ensi eri mu kukaaba naddala abantu abagobebwa ku ttaka n’abalala abalina obwetaavu ku nsonga z’amateeka naye nga tebasobola kusasula bisale bya waggulu ebya bannamateeka abeekozesa bokka,” Omulamuzi Kisakye bweyanyonyodde
Ono yasiimye Ssaabasajja Kabaka olw’okwolesebwa kuno kweyafunye nagigatta ku woofisi endala eziyamba abalina obwetaavu.
“Bajjaja ffe entalo bazirwanyisanga mafumu naye kati amafumu g’ennaku zino gali mu woofiis ezisalawo ne Kkooti,” Kisakye bweyayongeddeko.
Mu kwogera kwe Katikkiro Charles Peter Mayiga yagambye nti okutandikawo Woofiisi zino kijja kuyamba Obwakabaka kubanga bannamateeka bajja kubeera kumpi, era zijja kuyamba mu butaawukana ku mateeka.

Mayiga yagasseeko nti, guno mukisa munene eri Obwakabaka kubanga bwebunaaba bulwanirira federo, okukuuma m’okutaasa Nnamulondo, okulwanirira n’okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda byonna bijja kolebwa nga bagoberera Ssemateeka n’amateeka.
Yasabye Ssaabawolereza wa Buganda Oweek.Christopher Bwanika atandikire ku ky’okuzzaawo oluzzi Kalinda mu Ndeeba ku Kkanisa eyamenyeddwa.

Omukolo gwetabiddwako Omumyuka wa Katikkiro Ow’okubiri Oweek. Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, bannamateeka okuva mu bitongole eby’enjawulo, Ba Ssenkulu b’ebitongole by’obwakabaka n’abakungu abalala abawerako.








