Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’Eby’emirimu n’Obuyiiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, asisinkanye president w’ekibiina kya Global Social Economy Forum Joungu Youl Kim ne Secretary General, Laurence Kwark, okutema empenda ez’okutumbulamu eby’enfuna by’abantu nga bayita mu nkola y’obwegassi.
Bano bakulembeddwamu mayor wa Nakawa Ronald Balimwezo n’owa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebugwawo.
Mu kwogera kwe, owek Twaha Kaawaase agambye nti Buganda erina ebiruubirirwa byetambulizaako ensonga era enteekateeka ya Global Social EconomY Forum eri butereevu mu kiruubirirwa eky’okulaba nti obwakabaka bujja abantu baabwo mu bwavu,buyingiza ensimbi, budda ku ntikko, ate n’okulaba nti n’abavubuka bakwatibwako era kino kikolebwa nga buyita mu makubo ag’enjawulo omuli bulungibwansi omuyitibwa okumaakuma abantu olwo nebeenyigira mu mirimu gy’obwakabaka nekisobozesa buganda okukula.
Mayor wa Nakawa, Ronald Balimwezo agambye nti enkola y’obwegassi eyambye nnyo eggwaga lya korea okulaakulana era singa enywezebwa wano mu buganda kijja kuyambako abantu ba buganda okuva mu bwavu.
Mayor Balimwezo agambye nti enkola y’okusimba omuti mu mikolo gy’okwanjula, yeemu kwezo ejjayo obutereevu ebigendererwa by’ekibiina kino.