
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bugenda kuteekawo ekkaddiyizo ly’ebintu ebikadde eby’ Obwakabaka okusobola okutumbula eby’obulambuzi n’okwongera okukuuma ebintu bya Buganda nabanajja basobole okubisanga.
Kino kibikuddwa Minisita w’Obulambuzi, Ennono, Obuwangwa n’Embiri, Owek. David Kyewalabye Male ku Ssande ku mukolo gw’okuggalawo omwoleso gwa Buganda Ggaggadde, ogwayindidde mu Lubiri lw’e Mengo okumala wiiki nnamba.
Owek. Kyewalabye yagambye nti ng’ekitongole ky’obuwangwa, ennono n’obulambuzi, batandise ku nteekateeka ez’okussaawo ekkaddiyizo ly’ebintu by’Obwakabaka nga Ssaabasajja Kabaka bwe yalagira, n’okulaba nga bassaawo enteekateeka ey’okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka ey’olutentezi awatali kulinda mwoleso gwokka.

Minisita Kyewalabye yeebazizza nnyo Bboodi ey’Ebyennono n’Obulambuzi olw’enteekateeka y’omwoleso ennungi awamu ne Luba Events olw’okutuukiriza bye yasuubiza ng’omwoleso gutandika.
Ye Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board (BH&TB), Omuk. Victoria Kayaga, yagambye nti omwoleso gwetabiddwamu aboolesi abaasobye mu 250, n’abasaba okwongera okutumbula omutindo gw’ebyo bye boolesezza, abantu boongere okubeeyunira.
Abamu ku beetabye mu nteekateeka y’omwoleso beebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka eno ne basaba Bannayuganda okwongera okubawagira okusinga okugula ebiva ebweru.

Omwoleso gwaggaddwawo Maama Nnaabagereka, Sylvia Nagginda, era omuyima wa Bboodi ey’Ebyennono n’Obulambuzi wakati mu kusanyusibwa okuva mu Afrigo Band n’abayimbi abalala.
Omukolo gwetabiddwako, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule n’Omumyukawe, Oweek Ahmed Lwasa, Owek Noah Kiyimba, Oweek Hajji Amisi Kakomo, Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, n’abakungu abalala.









