Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’abavubuka, ebyemizannyo n’okwewummuzaamu, Owek. Henry Ssekabembe atongozza akakiiko akagenda okusomesa abavubuka okwetooloola Obwakabaka bwa Buganda.
“Omuvubuka bwe tumutandikira ku myaka 13 ng’ayingira Ssekendule.”
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, entegeka zino zitandikidde ku myaka 13 wadde ng’omuvubuka mu Buganda atwalibwa okuba ng’ali mu myaka 18. Owek. Ssekabembe atongozza akakiiko akagenda okukola ebbago erinaalung’amya emikolo gy’ebyoto mu Buganda.
Akakiiko kakulirwa Mw. Ssali Damascus, amyukibwa Owek. Nantumbwe Rose.
Abalala abali ku kakiiko; Ddamba Andrew, Namazzi Windfred Birabwa ne Masembe Edward.
Owek. Ssekabembe agambye nti abasomeseza ku byoto basomesa bye basanze naddala ebyobufumbo mu kisenge ate nga nabyo tebabituukiridde bulungi.
Eyaweereddwa obuvunaanyizibwa okulira akakiiko kano, Ssali Damascus yeeyamye ku lwa banne okukola kyonna ekisoboka okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno era neyeebaza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okubalengera.
Akakiiko kaweereddwa omwezi gumu okumaliriza ebbago oluvannyuma Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu alyanjule mu Lukiiko lwa Buganda likubaganyizibweko ebirowoozo.