• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda yaakutendeka abasomesa okusomeseza ku mutimbagano

Gambuuze by Gambuuze
August 6, 2021
in Amawulire
0 0
0
Buganda yaakutendeka abasomesa okusomeseza ku mutimbagano
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Obwakabaka bwa Buganda bwakutandika okusomesa abasomesa bonna mu masomero gaabwo ku ngeri y’okusomesezaamu abayizi ku mutimbagano naddala mu kiseera kino ng’amasomero gali ku muggalo olwa COVID-19.

Kino kirangiriddwa Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, bw’abadde akwasibwa ebyava mu bibuuzo by’abayizi ab’amasomero g’Obwakabaka eby’omwaka 2020 mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano.

“Tukubirize abasomesa baffe okusomeseza abaana ku mutimbagano, Ffe ng’Obwakabaka weetuli okubayambako, okubawa emisomo n’okubabangula era mu bbanga ttono tugenda kuteekawo  emisomo. Nja  kwenyigiramu nze kennyini tuyigirize omusomesa bw’alina okutegeka by’agenda okusomesa eby’oku mutimbagano alabe bwebyawuka neebyo eby’oku lubaawo.” Owek. Nankindu bw’annyonnyodde.

Owek. Nankindu ategeezezza nti tebasobola kutuula butuuzi ng’Obwakabaka ng’abaana mu mawanga amalala basomera ku mutimbagano era ebyenjigiriza byabwe bikyatambula bulungi.

Minisita Nankindu yeebazizza abasomesa mu masomero g’Obwakabaka olwokukola obutawera okulaba ng’abaana ba Buganda basoma n’abasaba okwongeramu amaanyi wadde wakyaliwo okusoomoozebwa.

Ono agasseeko nti abaana abafuna bbasale, babeera bava mu maka maavu nga tebalina bikozesebwa, naye abasiimye olw’okukola ennyo ne basobola okubayisa obulungi.

Okusinziira ku mukulu w’essomero erya Lubiri High school e Mmengo, Immaculate Nampijja,  ategeezezza  nti ku kusoomoozebwa okwaliwo awamu n’akabanga akatono abayizi ke baamala ku ssomero, baakoze bulungi bw’ogeraageranya n’omwaka gwa 2019.

Nampijja agamba nti abaana baagayaala nnyo mu kiseera ky’okuggalo era baasanga ebizibu bingi ekimu ku bintu ebyabaviirako obutayita bulungi.

Ebyanjuddwa byava my masomero okuli;  Lubiri Nnaabagereka primary school, Lubiri High e Mmengo, Lubiri High e Buloba awamu ne  Bbowa Vocational SSS.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist