Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka nga buyitira mu Mnisitule y’ebyobulimi awamu n’ekitongole kya BUCADEF, bugenda kuteeka emmeresezo (Nursery Bed) ku buli mbuga ya ssaza okusobola okuteeka amaanyi mu kulima emmwanyi awamu n’ebirime ebirala eby’enkizo.
Bino byogeddwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobuliimi, obwegassi n’obusuubuzi mu Buganda, bw’abadde alambula essaza Butambala okulaba enteekateeka y’Emmwanyi Terimba w’etuuse.
“Emu ku ngeri gye tusobola okukola obuteebalira okuzza Buganda ku ntikko kwe kulima ebintu bye tulinamu enkizo mu byafaayo byaffe. Era kye tulinamu enkizo kwe kulima emmwanyi n’ebitooke.” Owek. Kakomo bwe yagambye.
Okusinziira ku Owek. Hajji Hamis Kakomo, kino kigendereddwamu okulaba ng’abantu ba Kabaka basobola okufuna endokwa z’emmwannyi okuva ku Masaza gaabwe, kisobozese enteekateeka ya Emmwanyi Terimba okunnyikira obulungi.
Owek. Kakomo yasabye abantu ba Kabaka okukomya okwetundako ettaka naye balirimireko emmwanyi n’ebirime ebirala, basobole okweggya mu bwavu olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Ono yakuutidde abantu ba Kabaka okwongera amaanyi mu nkola y’emirimu gyabwe era bakole ekyo ekibasuubirwamu.
Owek. Kakomo yasiimye Katambala olw’okubeera eky’okulabirako n’ateeka pulojeekiti ez’enjawulo ku ttaka ly’embuga n’asobola okufunamu ssente ezisobola okutambuza emirimu gy’essaza.
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Butambala,
Hajji Sulaiman Magala yategeezezza nga bo beetegefu okuteeka enkola eno mu nkola okulaba nga balima emmwanyi eddemu okututumuka mu Buganda, kisobozese okukulaakulanya abantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Enteekateeka eno egenda kutandikira mu masaza 7 okuli; Butambala , Buddu, Mawokota , Gomba , Busujju , Kyaggwe ne Busiro ng’ejja kutongozebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga era nga yaakwongezebwayo okutuuka ku magombolola.