Bya Ssemakula John
Lwengo
Obwakabaka bwa Buganda bugenda kutandikawo ekitongole kya ‘Buganda Chamber of Commerce,’ okulondoola n’okuyimusa eby’obusuubuzi n’emirimu egy’enjawulo n’okukulaakulanya abantu ba Kabaka.
“Tuli mu nteekateeka okulaba ng’Obwakabaka buteekawo ‘Buganda Chamber of Commerce’ nga bw’owulira ‘Uganda Chamber of Commerce.’ Ekibiina ekyo kye kijja okukwanaganya ebibiina ebirala byonna okulaba nti bibakolera omutindo, obutale wamu n’ebirala ebyetaagisa.” Owek. Nkalubo bw’agambye.
Ekyama kino kibikkuddwa Minisita w’ettaka, obulimi n’obweggassi, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja bw’abadde akiikiridde Katikkiro Mayiga mu lukiiko lwa bannakibiina kya Lwengo Development Cooperative Saving and Credit Society (LWEEDE) oluggalawo omwaka, leero ku Lwokusatu e Lwengo mu Buddu.
Ono ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kuteerawo abalimi amadduka mu byalo ebyenjawulo okubayambako okufuna ensigo entuufu wamu n’eddagala eritalina bulabe, bakomye okumala gagula bye basanze.
Minisita abalimi abasuubizza okubasindikira bannakyewa abeewaddeyo okutalaaga ebyalo okubasomesa ku nnima ey’omulembe, basobole okwongera okufunamu.
Minisita Mayanja abakunze abalimi okwettanira okukola SACCO kuba muno mwe mugenda okuva bbanka ya Buganda, esobola okuyamba okutuusa Buganda ku ntikko.
Abakuutidde okunyweza obwerufu mu biwandiiko, basobole okunyweza obumu awamu n’okwongera okukulaakulana.
Owek. Nkalubo bano abasiimye olw’okuteeka ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka mu nkola eky’okuzzaawo ebibiina by’obwegassi, okusobola okuyamba abantu be okukulaakulana era beeyagalire mu nsi yaabwe.
Omumyuka wa Ppookino, Mwalimu Kato Abdullah, omukolo agwetabyeko ne yeebaza bannakibiina kino olw’okuvaayo ne bafuuka eky’okulabirako mu kitundu kino.
Ye ssentebe wa Lweede SACCO, Kibuuka Kizito Mbaaga, agamba nti ekibiina kyabwe kibadde kitambula bulungi lwakuba baafuna okukosebwamu omwaka oguwedde olwekirwadde kya Covid 19 nga kireetedde bammemba obutasasula bulungi ssente ze baabawola eziri eyo mu bukadde 200. Wabula yeebazizza nnyo Obwakabaka bwa Buganda olwokubakwatizaako mu kuddukanya SACCO eno eya LWEDDE.
SACCO eno ekulaakulanira ku misinde gya yiriyiri oluvannyuma lw’okutandikibwawo mu mwaka gwa 2012 nga kati eweza bammemba 2000 ate ng’etereka ssente ezisoba mu buwumbi 2 n’obukadde 302 nga zino ze bakozesa okwewola n’okwekulaakulanya.