• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda twaniriza abantu bonna – Minisita Kiyimba

Gambuuze by Gambuuze
May 19, 2026
in Amawulire
0 0
0
Buganda twaniriza abantu bonna – Minisita Kiyimba
0
SHARES
6
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Huzairu Jjuuko Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Abaami ba Kabaka bakubiriziddwa okwaniriza abantu ba Kabaka bonna mu bitundu byabwe gye bawangaalira.

Obubaka buno Minisita wa Kabaka owa Kabineeti, Olukiiko Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba abuweeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde (37) okuva ggombolola ez’enjawulo mu masaza; Salongo, Buddu, Bulemeezi, Butambala ne Kyaggwe.

“Mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna okuli n’eno ey’oluwalo tetusosola mu bantu ba Kabaka, oyo yenna ategeera Kabaka nti ye Kitaffe tumwaniriza, era abaami ba Kabaka tubakubiriza tebatekeddwa kusosola bantu ba Kabaka kubanga buli muntu ali mu Uganda muntu wa Kabaka n’olwekyo tuteekeddwa okutambulira awamu” Minisita Kiyimba”.

Minisita ayongedde okujjukiza abantu ku nteekateeka y’obwakabaka ey’okusitula omutindo, era n’ategeeza nti enteekateeka eno erimu okuteeka amaanyi mu kulima emmwanyi nga wano w’asinzidde n’asaba abantu akunyiikira okwettanira ekirime eky’emmwanyi.

“Ffenna tukimanyi bulungi nti Obwakabaka bwakanjula enteekateeka ya Situla Omutindo, naye nyongera akubategeeza nti entekateka eno erimu okuteeka amaanyi mu kulima emmwanyi n’olwekyo tubakubiriza okwongera amaanyi mu kulima emmwanyi nga Kamalabyonna bw’atukubiriza entakera” Minisita Kiyimba.

Mu mbeera y’emu Minisita alaajanidde abantu okunyiikira okwegobako nnawookeera w’obwavu nga beyambisa ekirime ekyemmwanyi era wano wakangulidde ku ddoboozi ku bavubuka ba ngalobunani wamu n’abo abatunda ettaka, abasabye nti mu kifo ky’okwetundako ettaka, balyeyambise nga balikolerako ebisaanidde nga okulimirako emmwanyi.

Minisita ajukizza abazadde nti abaana batuuse okudda ku masomero era abakubirizza okunyiikira okuzza abaana ku masomero, asabye abaami ba Kabaka abatongole n’abemiruka okutuukirira abazadde abo abalekerera abaana baabwe, babakomeko kiyambeko okulaba nga buli mwana afuna omukisa okusomesebwa.

Omwami w’essaza ly’e Ssingo, Mukwenda Kagimu Deo akubirizza abantu okunyiikira okukozesa ebyo ebibalinanye kibayambeko okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.

Ye Omubaka akiikirira abantu b’e Bukoto mu lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon. Emmanuel Kiyimba ayozaayozezza Katikkiro olw’okuweza emyaka 13 nga akutte ddamula nga wano ajjukizza abantu ensonga za Buganda ssemasonga ettano era n’awera nkolokooto okuzirwanirira mu kisanja kye kino ekisoose mu paalamenti.

Eggombolola Musaale Wakyato ery’essaza Bulemeezi lye lisinze amalala mu kuwaayo oluwalo leero, bawaddeyo obukadde munaana n’emitwalo ena mu enkumi ttaano mu bitaano (8,045,500shs).

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.