Bya Francis Ndugwa
Nkoni – Buddu
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ategeezezza nti tewabangawo mulundi gwonna, kitundu kya Buganda lwe kyali kyagadde okweyawula ku Uganda eyaawamu era ne yeewuunya lwaki omutima gwa Buganda ogw’okusembeza abalala gutwalibwa ng’obunafu.
“Tuvumirira nnyo bannaffe abo abateekawo embeera mu bugenderevu okutuggya ku mulamwa gw’okujjukiza abakulembeze b’eggwanga ku nsonga y’Ebyaffe. Buganda teyagalangako kwekutula ku bitundu ebirala ebya Uganda, wadde okugoba bannayuganda abalala.” bw’atyo Omuteregga bw’alambise.
Bino Nnamunswa abyogeredde ku mukolo ogw’okujjukira amatikkkira ogwa 28 oguyindidde mu Lubiri lw’e Nkoni mu Buddu mu nkola eya ssaayansi.
Omutanda alambuludde nti Buganda ku bintu byayo by’ebanja, nti tewali kkubo ddala ly’ekutte okuggyako okuteesa n’okujjukiza abali mu buyinza ku nsonga ezakkaanyizibwako awamu n’ezo endala ezikwata ku ddembe ly’abantu, kisobole okuteekawo obukulembeze obw’amazima n’obwenkanya.
“Emyaka kati giweze 28 nga tuli ku nsonga zino naye tumanyi nti zijja kuggwa mu bukkakkamu n’omukwano. Tetugenda kukoowa kubanja gavumenti okutuusa nga tufunye amazima n’obwenkanya era njagala nkiddemu nti tetugenda kukoowa kujjukiza gavumenti yaffe nti ng’okufaananako n’ebitundu by’eggwanga ebirala, naffe tulina Ebintu byaffe ebitalina kuteekebwako bukwakkulizo.” Ssaabasajja bw’ategeezezza mu bubaka bwe obw’okujjukira bwe giweze emyaka 28 ng’alamula Obuganda.
Beene era avumiridde abo bonna abateekawo embeera mu bugenderevu okuggya abantu be ku mulamwa ogw’okujjukiza abakulembeze b’eggwanga ku bitundu Buganda by’ebanja.
Omutanda asiimye abo bonna abakoze obwannakyewa mu ngeri y’obuteebalira ne bayimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka wakati nga Buganda tesolooza musolo ate nga n’ebintu byabwo bikyagaanye okuzzibwa.
Omuteregga asiimye; Ppookino, abaami b’amasaza, ababaka abava mu Buganda, abakozi ba Nkuluze awamu n’abataka abakulu ab’obusolya naddala abavubuka abaakalondebwa.
“Abataka abasinga bakyali bavubuka ate nga bayivu bulungi.Tubasaba okukozesa obuyigirize bwabwe n’obumalirivu bwe balina mu bintu eby’enjawulo, okukubiriza bazzukulu baabwe okukola ennyo n’okunywerera ku nnono.” Ssemunywa bw’ategeezezza.
Ssebuufubwango yeewuunyizza abavumirira ttaka lya mayiro nga bagamba nti lye livaako embeteza mu Uganda, n’alambika nti si kituufu. Omutanda yeebuuza lwaki abavumirira ettaka lya mayiro, ettaka eriri mu bitundu bya Uganda ebirala tebalyogerako ate nga nalyo liriko emivuyo.
Matumpaggwa avumiridde nnyo enfuga etagoberera mateeka era ne yeebaza abagasse eddoboozi lyabwe ku ly’Obwakabaka mu kuvumirira effugabbi.
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, atenderezza maasomoogi olw’okukumaakuma abantu be n’okusosowaza abavubuka, n’agamba nti obukulembeze bw’Omutanda buleseewo enjawulo y’amaanyi mu ggwanga. Ono ajjukizza abantu nti Kabaka ke kabonero akalaga okubaawo kwa Buganda era n’ategeeza, nti kikulu nnyo okujaguza Amatikkira kubanga gaggyayo amakulu nti Kabaka ky’Ekitikkiro ky’Obwakabaka bwa Buganda.
Mukuumaddamula asiinyizza ku nsonga y’ettaka lya mayiro ekutte akati ensangi zino, n’addamu n’akyogera kaati nga bulijjo, nti ettaka lya mayiro si kye kizibu ky’ettaka mu ggwanga. Ono aloopedde Sseggwanga nti abantu be basengulwa ku ttaka oluusi ne battibwa olw’emivuyo gy’ettaka era n’awera nti mwetegefu okusisinkana abakwatibwako ensonga z’ettaka mu ggwanga, bakubaganye ebirowoozo ku nsonga z’ettaka ate abannyonnyole n’ensonga lwaki ettaka lya mayiro si kye kizibu.
Owoomumbuga alabudde nti singa ettaka lya Buganda litwalibwa, erimu ku ssiga lya Buganda ekkulu nga lino erikwata ku bataka, lisobola okubetenkeka kubanga ettaka liriko ennono ey’omuggundu. Wano w’asabidde abalina kye basobola okutaasa ettaka lya Buganda, okuvaayo n’amaanyi.
Amatikkira gakuziddwa Nkoni mu Buddu era geetabiddwako abagenyi balubatu okusobola okwewala okusaasaanya Ssennyiga kolona.