Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga agambye nti Buganda okwagala ebintu byayo tekirina ngeri yonna gye kifeebyamu bitundu birala wadde n’akatono, kuba nabyo birina ebintu byabyo kwe byesigamye.
Katikkiro Mayiga agamba nti Buganda erina ensonga Ssemasonga ttaano era ababaka baazisuubiza abantu nga banoonya akalulu era basuubirwa okuzirwanirira olw’ensonga nti bazimanyi bulungi.
“Buli munnayuganda ava mu Buganda yettanire ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano. Ekyo sisobola ku kyekweka era nkibagamba mu lwatu kubanga bw’otobaako kiruubirirwa, oba tolina ky’oliko.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Bino Katikkiro Mayiga abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu n’akulira oludda oluwabula gavumenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ne bakulembeze banne mu Bulange e Mmengo ku Mmande, okumwanjulira enteekateeka zaabwe.
“Mbasaba tweyigirize okuteeseganya n’okuwuliziganya mu by’obufuzi bya Uganda, ebyobufuzi bijja kuvaawo naye Uganda tejja kuvaawo era tubeeko ensonga ze tukkaanyaako ng’eggwanga, kisobozese eggwanga okugenda mu maaso.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Mukuumaddamula annyonnyodde nti omulimu omukulu ogw’oludda oluvuganya si kuwakanya buli kimu, naye balina okuwa amagezi n’okuwa ebirowoozo ebyenjawulo bye balowooza nti eggwanga bwe lirina okutambula mu nsonga okuli; ebyobulimi, ebyenfuna, ebyokwerinda, ebyobulamu n’embeera z’abantu.
Ku nsonga y’ettemu eriri e Buddu, Katikkiro Mayiga ayagala gavumenti enyweze obukessi era ekigendererwa ky’ettemu lino kimanyibwe awamu n’abo abavujjirira obutemu buno.
Akulira oludda oluvuganya era omubaka wa Nyendo- Mukungwe, Owek. Mathias Mpuuga ategeezezza nti obuvunaanyizibwa bwe balina si bwa kibiina naye bwa ggwanga lyonna, kuba Uganda tekoma ku bannabyabufuzi naye abantu abatuula ne bakkaanya okukola ensi gye bayita Uganda, basobole okufuna ebirowoozo byabwe kuba omwana gwe baazaala azing’amye.
“Amaloboozi mangi tugawulira, mu bitundu ebyenjawulo mu babaka ab’enjawulo abamu ba kibiina ekiri mu buyinza nga bonna bagamba nga tewali kigenda mu maaso, omwana gwe bayita Uganda anaaba atya, alangirirwe mu baazing’ama?” Owek. Mpuuga bw’agasseeko.
Owek. Mpuuga annyonnyodde nti enteekateeka gye balina yaakulaba ng’amalwaliro gaddaabirizibwa, amasomero gabeere malungi n’abasomesa basasulibwe, amakubo gakolebwe era nga balowooza nti okuvuganya kwe balina kwe kusunsula ensonga ez’enkizo, kiragewo enjawulo.
Ono asuubizza okutambulira awamu n’ebyo Buganda by’erwanirira kuba Buganda bw’erinnya ne Uganda egenda waggulu. Bw’atyo aweze okugoberera n’okuwolereza enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda awamu n’okulwanirira omugabo gwa Buganda mu Uganda, awatali kukwatibwa nsonyi.
Okusinziira ku Mpuuga, akaseera katuuse eggwanga lifune omusittale ku ebyo ebikkirizibwa nga ge mateeka agakola so si kuba nga buli kimu kisoboka era kikolebwa mu ggwanga Uganda.
Omubaka Mpuuga alabudde bannabyabufuzi okukomya okukozesa amaloboozi agatali ga buvunaanyizibwa ku ttemu ly’ebijambiya, n’abasaba obutagezaako kutabangula mitima gy’abantu.