Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka ekya Buganda Land Board kitongozza enkola gye kituumye, Express Plan egenda okusobozesa abantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka okufuna ebyapa mu bwangu.
Enteekateeka eno eyanjuddwa Ssenkulu wa Buganda Land Board, Omukungu Simon Kabogozza ku mukolo Buganda Land Board kweddizza obuggya enkolagana yaayo ne bbanka ya Housing Finance Bank e Kololo.
“Mu nteekateeka eno, tukubirizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka yonna gye bali okwettanira okufuna ebiwandiiko ebikwata ku ttaka n’okwettanira okumanya ebituufu ku nzirukanya y’ettaka.” Omuk. Kabogozza bw’ategeezezza.
Omuk. Kabogozza asabye gavumenti ekulemberemu kaweefube w’okuyambako okusomesa abantu bawansi basobole okuyambibwa ku nsonga y’ettaka kiyambeko okumalawo enkaayana ku ttaka.
Ono annyonnyodde nti mu nkola eno eya Express Plan, abantu baakufuna ebyapa mu bbanga lya mwezi gumu okwawukanako n’enkola enkadde ebadde ey’okumala emyezi 6.
Kaboggoza ategeezezza nga bwe wakyaliwo okusoomooza ku muwendo gw’abantu abalina ekyapa okubeera abatono, bw’atyo n’asaba gavumenti okukolagana ne Buganda Land Board basobozese abantu, okufuna ebiwandiiko ku ttaka.
Ssenkulu wa Bank eya Housing Finance Bank, Micheal Mugabi agambye nti baakwongera okukolagana ne Buganda Land Board mu nteekateeka eno kuba bafaanaganya ebiruubirirwa ate nga era bingi ebituukiddwako mu nkolagana eyatandika mu 2013.
Omukugu Yunus Babowaire okuva mu House Finance Bank agamba nti abantu abeetaaga okufuna ebyapa okuva mu Buganda Land, baakubawa ensimbi ku kibanja mpola ate n’obudde obumala okukomyawo ensimbi zino.