• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda Land Board efunye Ssenkulu omuggya

Gambuuze by Gambuuze
March 2, 2020
in Amawulire
0 0
0
Buganda Land Board efunye Ssenkulu omuggya
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Kaboggoza ku kkono ng’alamusa ku Katikkiro

Musasi waffe

Ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka ekikola ku ttaka ekya Buganda Land Board [BLB] kifunye Ssenkulu omuggya.

Simon Kaboggoza alondeddwa okudda mu bigere bya Oweek. David Kyewalabye Male ng’ono mu Mukutulansanja wa 2019 yalondebwa nga minisita avunanyizibwa ku bulambuzi, embiri, amasiro n’obuwangwa.

Kyewalabye yalekebwa ku kifo ekyo okumala omwaka, kiyambeko okuteekateeka enzirukanya y’ekitongole nga bwenabeera n’okwekkenenya ani asaanidde okumuddira mu bigere.

Ng’ayajula Kaboggoza Katikkiro Charles Peter Mayiga, amusabye okukola obutaweera okwongera okutumbula omutindo gwa BLB.

 “Olukiiko olufuga BLB lwasemba Omuk. Simon Kaboggoza okubeera Ssenkulu omuggya. Ebimukwatako nabituusa embuga era Ssaabasajja Kabaka n’asemba omulimu ogwo agutwale,” Mayiga bwagambye.

“Nebaza Oweek. David Kyewalabye Male olw’obuweereza bwakoze mu kitongole kyaffe ekyo eky’ettaka emyaka kumpi 12,” Mayiga bwagambye.

Kyewalabye male yaliko Ssenkulu wa Bucadef wamu n’omuwanika w’Enkuluze.

Ekitongole kya BLB kyatondebwawo mu 1993 nga kiyitibwa Ebyaffe Board nga kikulirwa John Kawanga eyali omubaka wa palamenti akiikirira ekibuga ky’e Masaka.

Ono yaddirirwa James Mulwana oluvanyuma Oweek. Martin Kasekende. Mu 1994 erinnya lyakyusibwa ne kiyitibwa Buganda Land Board era kibadde ne bassenkulu, Michael Ssozi, Omuk. Levi Zzimbe wamu n’Oweek David Kyewalabye Male.

BLB erabirira ettaka ly’Obwakabaka erya Nkuluze olusi eriyitibwa Olusuku lwa Ssaabasajja Kabaka mayilo 350 ezivaamu ebiwanirira emirimu gya Kabaka n’embiri.

BLB era erabirira ettaka lya Buganda ettongole ng’eririko Bulange ne Masengere oba ettaka okutudde embuga z’amasaza n’amaggombolola.

 Eddala mulimu ettaka ly’ebayitanga ery’abaami, ettaka lya Katikkiro, ettaka ly’omulamuzi, ettaka lya Namasole, ettaka ly’omuwanika, ettaka lya Nnalinnya Lubuga n’eddala.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist