Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agamba nti bwe kiba ng’abakulu mu gavumenti balowooza nti ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka ekya Buganda Land Board (BLB) tekiriiwo mu mateeka, kitegeeza nti ne Palamenti, amakampuni wamu ne gavumenti yennyini nayo tebiriiwo mu mateeka kuba bino byonna biteekebwawo mateeka ne Ssemateeka wa Uganda.
Katikkiro Mayiga okwogera bino abadde mu bimuli bya Bulange olwaleero ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 52 okuva mu magombolola z’e Busiro, Kyaddondo, ne Kyaggwe wamu n’abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya America.
“Buganda Land Board yateekebwawo Ssaabasajja Kabaka ng’asinziira mu buyinza bwe bw’alina mu nnono n’Obuwangwa. Ssemateeka wa Uganda mwe tutambulira amanyi obuwangwa era Buganda Land Board yawandiisibwa mu tteeka lya kkampuni agayisibwa Palamenti ya Uganda era eriwo mu mateeka.”
“Bw’eba Buganda Land Board nfu, kitegeeza amakampuni gonna agawandiikibwa amalala gonna mafu, kitegeeza Palamenti nfu, kitegeeza ne gavumenti nfu.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga ategeezezza nti ye amanyi Ssemateeka mulamu, gavumenti nnamu era eriwo mu mateeka n’ekitongole kya Buganda Land Board kiramu kuba kyawandiisibwa mu mateeka.
Katikkiro agamba nti Buganda eteeberezebwa okutuula ku bwagagavu bwa ssikweya mayiro 18500 kyokka ku lino Buganda Land Board erabirirako 1000 lwokka nga kibeera kikyamu gavumenti obutafa ku ttaka eddene ne yeesiba ku eryo erirabirirwa ekitongole kino ate ng’erisinga eriwera 17500 liri mu mikono gya gavumenti.
Ono annyonnyodde nti bwekiba nti Kabaka afuna ssente mu ttaka n’agema abaana, n’aweerera abaana, kizibu ki ekiri mu ekyo.
Ono asabye gavumenti egonjoole ebizibu ebiri ku ttaka ate yeewale okutondawo ebizibu we bitali bw’atyo asabye abantu bulijjo okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka era asiimye Oluwalo olwavudde mu America.
Ate ye Minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu, Joseph Kawuki yeebazizza abantu abaleese Oluwalo era n’ayozaayoza abaami b’amagombolola abaafunye obwami.
Ono akunze abantu ba Kabaka okwegemesa n’okwerinda ekirwadde kya Corona era bafeeyo nnyo okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.