Bya Stephen Kulubasi
Lubaga – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde nga bwe giweze emyaka 55 bukya bajaasi ba Apollo Milton Obote balumba Olubiri lw’e Mmengo era kino kikoleddwa mu kusaba okwenjawulo okwategekeddwa mu Lutikko e Lubaga ne balaga obutali bumativu ku bintu byayo ebikyalemedde mu mikono gya gavumenti.
Ku lw’enju ya Ssekabaka Muteesa II, Omulangira David Kintu Wassajja atadde gavumenti ku nninga n’agisaba esasule ebintu bya Buganda ebyawambibwa mu kavuvung’ano k’okulumba Olubiri.
“Nnatunuddeko mu mbalirira y’eggwanga ne ndaba nga ku mabanja enkumu agagenda okusasulwa, temuli wadde erya Buganda erigenda okusasulwa. Buli omu bazze bamusasula nga n’abekkanisa y’omu Ndeeba eyamanyebwa jjuuzi bagenda kusasulwa kyokka ffe abaludde nga tubanja tebatunyega.” Omulangira Wassajja bw’agambye.
Ono asabye gavumenti efumiitirize ku bigambo bya Kabaka bye yayogera bwe yagamba nti abo bonna abalina ebintu ebitali byabwe beekube mu kifuba babiddize bannannyini byo. Omulangira Wassajja alaze ebimu ku bintu Buganda by’ebanja omuli awatudde ebitebe by’amagye, ebitawuluzi, n’ebikozesebwa ekitongole kya gavumenti ez’ebitundu.
Okusinziira ku Mulangira Wassajja gavumenti tennaba kukyusa byapa by’ettaka eryaddizibwa Obwakabaka mu 2013 era kirabika nga Buganda eyaweebwa ebyoya by’enswa. Ono alaze nti okusobola okuleetawo okutabagana n’okwerabira ebyaliwo mu 1966 enjuuyi zombi zirina okwewa ekitiibwa era wabeewo obwenkanya.
“Tulina ebisoomooza n’ebyokuyiga bingi okuva mu kambattuko ka 1966 naye nzikiriza nti wabeerewo obwenkanya n’okwogerezeganya naddala ku by’ensasula. Kati emyaka giweze 55 okuva ebintu bya Buganda lwe byawambibwa. Ebbanga eryo ddene era singa kati tetukyabyogerako.” Omulangira Wassajja bw’ategeezezza.
Omulangira atenderezza obuvumu Ssekabaka Muteesa II bwe yayolesa n’asigala ku kye yali akkirizizaamu wadde ng’akaseera kaali kazibu.
Ate ye omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, asabye abantu ba Buganda okunyweza obumu era basigale nga balwanirira ensonga za Buganda mu mbeera yonna.
Bino Owek. Kaawaase abitadde mu bubaka bw’atisse Sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule n’abasaba okwesigama ku byayita basobole okufuna bye bayiga era bagende mu maaso.
Akulembeddemu ekitambiro ky’emmisa, Msgr. Gerald Kalumba, asabye bannayuganda okusabira Uganda ne Buganda okutebenkera.
Ono yeekokkodde ebeera y’ebyobufuzi eriwo gy’agambye nti efufuggaza Obwakabaka bwa Buganda era n’akiwanuuza ku bigambo by’omukulembeze gw’atayagadde kw’atuukiriza mannya eyagamba nti, “Obote yakola ensobi okulumba Buganda ng’akozesa emmundu, yandigirumbye na byabufuzi.
Kinajjukirwa nti Olubiri lwa Buganda lwalumbibwa ku makya g’olwokubiri nga 24 May 1966 era Ssekabaka Muteesa 11 mu katabo ke “The desecration of my kingdom,” agamba nti emmundu ze zaamuwawamula mu tulo.
Amagye gano agaali galina okuba wansi we ng’omuduumizi ow’okuntikko era Pulezidenti w’eggwanga gaali gaduumirwa Gen. Idd Amin Dada ku biragiro bya Apollo Milton Obote eyali Ssaabaminisita wa Uganda, abaganda gwe baakazaako erya ‘Kawenkene’
Olunaku luno lukuzibwa buli mwaka naye olw’embeera ya Ssennyiga Corona, gwetabiddwako abantu batono nnyo.