
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirowoozo byabwo eri akakiiko akakola ku bbago ly’ebyensoma, akakulirwa Hon. Amanya Mushega nebusaba essira liteekebwe ku by’obulimi, ennimi ennansi ne Tekinologiya okusobola okuleetawo enkulaakulana.
Bino bibadde mu nsisinkano wakati w’abakulira akakiiko kano n’abakulu mu bw’ Obwakabaka eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
Bw’abadde awaayo ebimu ku birowoozo Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti wadde abamu enkulaakulana bagilaba mu makolero naye esobola bulungi okuva mu bulimi.
“Ndowooza enteekateeka empya mu byenjigiriza erina okussa omulaka ku by’obulimi kubanga abantu ebitundu 70 ku buli 100 y’ensonga gyebaliko, ndowooza n’ebyobulunzi era bwetuba twagala okufuna amakolero, tutandikire mu bulimi nga olina emmwaanyi nosunsula, okusunsula ekyo kyuma. Tulina enkizo ku bulimi era ndowooza byandibadde byabuwaze okutuuka ku Siniya ey’okuna,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga ayagala ebyenjigiriza biteeke essira ku nnimi ennansi kuba kino kya bugagga, abaana basobole okuyiga oluganda, abe Gulu bayige olu ‘Luo’ naba mu Ankole bayige olunyakitala okwo bagatteko Oluswayiri.

Ono alabudde nti singa gavumenti eremera ku by’okuleetera Oluswayiri ate nefeebya ennimi endala abantu tebajja kuluyiga bwatyo nasaba obupande ku nguudo buteekebwe mu nnimi ennansi kiyambeko abantu okwenoonya n’okwevumbula.
Mukuumaddamula Mayiga era asabye abayizi ku mutendera gwa Pulayimale ne Sekendule bayigirizibwe Tekinologiya ne Saayansi nga gabuwaze.
Ono era ayagala ebyafaayo byabuli kitundu bisomesebwe mu buli kitundu kiyambe bannayuganda okwagalana era bamanye ensibuko yabwe bakomye okwetya.
Owek. Mayiga ategeezezza nti abaana basaana okuyiga ebintu ebyenjawulo nga okubajja, okutunga n’ebirala nga bino basobola bulungi okubikola nebweba nga balina ebintu ebirala nga amateeka byebakuguseemu.
Ssentebe w’Akakiiko, Hon. Amanya Mushega, abasuubizza okwekenneenya ebirowoozo byonna ebiweereddwayo era nategeeza nti abaagala okuddamu okwetegereza engeri abantu gyebafunanga amagezi n’okuyigirizibwa nga omuzungu tanajja.
Ono annyonnyodde nti beetaaga ebirowoozo okuva mu Buganda n’eggwanga lyonna okusobola okutereeza ebyensoma mu ggwanga n’embeera z’abantu mu ggwanga, batuuke ku ndala nga abantu abalala bebajja wano okuyiga okusinga okulinnya ennyonyi nga bagenda ku kyeeyo.
Yo alipoota esomeddwa Ssentebe w’Akakiiko k’ebyenjiriza mu Bwakabaka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, Obwakabaka bulowoozo nti ebigezo bya nnassale tebyetaagisa, so nga omutendera ogwa pulayimale gusaana okussa essira kw’ebyo omuyizi by’asobola.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abakungu abakwatibwako okuva mu gavumenti eyawakati nemu Bwakabaka.









