• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda eyagala amateeka g’abaliko obulemu gateekebwe mu nkola

Gambuuze by Gambuuze
December 12, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Buganda eyagala amateeka g’abaliko obulemu gateekebwe mu nkola
0
SHARES
19
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda busabye abakwasisa amateeka g’abantu abaliko obulemu okufuba okulaba nti gateekebwa mu nkola wasobole okubeerawo obwenkanya ku bantu ab’ekikula kino.

Okusaba kuno kukoleddwa minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Noah Kiyimba bw’abadde ayogerako ne bannamawulire e Bulange Mmengo.

Minisita Kiyimba  ategeezezza nti olunaku lw’omwaka guno,  Beene yasiima lukuzibwe nga Decemba 14 wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okutumbula Embeera z’Abaliko Obulemu mu Buganda”.

Owek. Kiyimba alaze obukulu  bw’okusomesa abaana abaliko obulemu nakakasa nti basobola bulungi okubeera ab’omugaso era nebakola ebintu eby’omuwendo ebigasa ensi yabwe bwatyo nalabula abazadde abalemeddemu omuze gw’okukweka abaana mu nju olw’okuba baliko obulemu.

Ono annyonnyodde nti abaana bano basobola bulungi okusoma era nasaba abazadde abatalina busobozi okweyuna bbasale z’Obwakabaka basobole okuwa abaana bano ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Minisita Kiyimba asabye ebitongole ne kampuni ezigaba emirimu okulowooza ku ky’okuwa abaliko obulemu omukisa kuba bano balina ebitone ebyenjawulo nga abamu basobola bulungi okuvuganya n’abantu abataliiko bulemu ate nebabasinga.

Owek. Kiyimba era asabye abantu abaliko obulemu okusibwa ku mwanjo bwekituuka mu nsonga zebyobulamu , ebyenjigiriza ne bintu ebirala kubanga nabo balina eddembe okubifuna.

Omukiise wabaliko Obulemu mu lukiiko lwa Buganda Owek. Dr. Vincent Ssenabulya yeebaziza Obwakabaka olwokubassa ku mwanjo wabula nafalaasira abaliko obulemu okukozesa omukisa guno okukyuusa embeera yabwe.

Dr.  Ssenabulya agamba nti newankubadde abaliko obulemu balina ebizibu eby’enjawulo ebyekuusa ku nkula yabwe, tebasaanidde kwekubagiza kuba baamukisa nnyo okuba abalamu, ate nga balina n’ebintu bingi bye bayinza okukola ne bibayamba okubeerawo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist