Bulange -Mengo
Bya Ronald Mukasa
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze mu Buganda n’eggwanga lyonna okukolagana obulungi ne bannaabwe nga bawangana amagezi, wamu n’okwessaamu ekitiibwa nga bagoberera ennambika ezibaweebwa bakama baabwe n’okukola Ssaabasajja byayagala.
Mukuumaddamula era asabye abakulembeze bulijjo okunoonya amagezi okuva mu bantu ab’enjawulo basobole okuwangula mu buweereza bwabwe. Mu ngeri yeemu, Kamalabyonna akalaatidde abakulembeze okuwa abantu abalala ekitiibwa okutandikira ddala ku muntu asooka okutuuka ku muntu asembayo olwo nabo basobole okuweebwa ekitiibwa ekibagwana.
“Ow’eggombolola bwabeera nga alina omusiri gw’emmwanyi nga yeewa ekitiibwa, lwaki abantu tebamuwulirize bwagamba nti bannange mukole kino Kabaka kyayagala?” Katikkiro bwabuuzizza
Owomumbuga yebazizza Bannassingo ne Bannakabula abakiise Embuga olwaleero nategeeza ng’Obuganda bwebuteekeddwa okwelwanako nga bukola ate nga bwebubanja ebyo bye bwagala.
“Buganda ekyalina byebanja nga Federo, kyokka tulina okwelwanako nga bwetubanja, n’olwekyo Oluwalo kwelwanako emirimu gya Kabaka gisigale nga gitambula”. Katikkiro bwakkatirizza
Kulwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka, n’ensonga z’ebweru wa Buganda, Owek. Israel kazibwe Kitooke yebazizza abantu ba Beene abakiise embuga olwaleero nategeeza nga buli omu bwavunaanyizibwa obutaswaza Nnyinimu nga twenyigira buterevu mu nteekateeka w’Obwakabaka.
“Nga tetunnafuna Federo empandiike, twasalawo tube ne Federo eyaffe ey’ebikolwa, buli lwovaayo newenyigira mu nteekateeka Kamalabyonna zatulambika ne Ssaabasajja zatulagira, oba otaddewo Federo ey’ebikolwa elabisiddwa olwaleero” Owek. Kazibwe bwategeezezza.
Minisita kazibwe era alabudde Obuganda ku bantu abasekeeterera Obwakabaka nategeeza nti abantu ba Beene bwebaba abawulize eri Nnamulondo, abagyogerera ebisongovu baba tebalina gyebagitwala.
Bannassingo ne Bannakabula bakiise Embuga n’Oluwalo lwa bukadde bw’ensimbi ezisobye mu 25. Omukolo guno gwetabiddwako Abaami b’amagombolola n’amasaza okuli Mukwenda Deo Kagimu, Lumaama David Luyimbaazi, omubaka wa Kasanda South, Frank Kabuye, bannabyabufuzi ab’enjawulo n’abantu abalala bangi.