Bya Francis Ndugwa
Kampala
Katikkiro atongozza enteekateeka y’okuteeka amaloboozi n’ebiwandiiko by’olulimi Oluganda ku mutimbagano ng’okozesa Mozilla.
Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ssettendekero wa Makerere University nga wano Obwakabaka busse omukago ne Makerere okuteeka amaloboozi n’ebiwandiiko ku mutimbagano.
Bw’abadde atongoza enkola eno, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ensi ezikulaakulanye zikozesezza ennimi zaabwe kubanga ze balowoolezaamu.
Katikkiro Mayiga mu kwogera kwe ategeezezza nti abafuzi b’amatwale tebaayagala bantu kusoma Lungereza ate oluusi ng’abalusoma balina we batateekwa kusoma nga kino kyakola kinene okwerabiza bannansi ebyafaayo n’okuleka eby’omuwendo bye baasikira okuva ku bajjajjaabwe.
”Kyamukisa munene nnyo Oluganda bwe lugenda ku mutimbagano kuba buli muntu w’ali ajja kuba kuyambibwako okutegeera ebigenda mu maaso mu lulimi lwategeera. Tetuvumirira kuyiga nnimi nnyingi kuba kya bugagga naye tuleme kweggyako nnimi zaffe ennansi, ekyo kyabunafu, kyabujega.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga ekimu ku bisinze okuvaako obuvuyo n’obwavu mu Afirika kwe kuba nti twaggyibwako ennimi ennansi ne zisikizibwa engwira ng’obukugu bwe tufuna tetusobola kubunnyonnyola mu nnimi nnansi olw’ensonga nti tubisomera mu ngwira kyokka ate ne tusigala nga tulowooleza mu nnimi ennansi.
Owek. Mayiga agamba nti ekivaako kino kwe kaluubirirwa okunogera ebizibu bye baba basanze eddagala mu ngeri enyangu etuukana n’embeera zaabwe. Era kino kibasibako embeera z’obulamu enzibu awamu n’obwavu era kino kikakafu kuba ensi nga Denmark ezisobodde okwerwanako, zeekwata ku nnimi ennansi n’asaba kino kikyuke.
“Ekimu ku bintu ebisingira ddala okubeera eby’obulabe ekyava mu bafuzi b’amatwale, kwe kudibya ennimi ennansi. Yonna gye baali, baalina enteekateeka eng’enderere okutusuuza ebyaffe omuli obuwangwa, empisa n’ennono olwo tufuuke bakyeruppe mu mibiri emiddugavu.” Mukuumaddamula bw’agasseeko
Ono yeenyamidde olw’okuba nti buli kimu ekiri mu ggwanga kyawandiikibwa mu Lungereza nga Ssemateeka n’obupande ku nguudo nabwo buli mu Lungereza. Kyokka ng’abantu abasinga obungi tebalutegeera.
Minisita avunaanyizibwa ku by’obuwangwa, Olulimi n’Obulambuzi era eyakiikiridde Minisita Nankindu Kavuma, ategeezezza nti bakyali mu kaweefube okukwanaganya ebibiina n’ebitongole ebyenjawulo mu kukwanaganya olulimi Oluganda era abantu balina okumanya nti olulimi Oluganda kya buwangwa ekirina okukuumibwa.
Ate akuliddemu enteekateeka eno okuva ku Ssettendekero wa Makerere mu pulojeekiti ya Common Voice, Dr Joyce Nakatumba ategeezezza nti bagenda kuteekawo etterekero ly’emboozi ey’olukale era baakukung’aanya, okususunsula awamu n’okukuuma emboozi z’Oluganda ez’olukale nga bakolagana n’abantu ab’enjawulo n’emikutu gy’amawulire awamu n’engeri endala eziwerako.
Okusinziira ku Nakatumba, singa bino binaabeera biwedde, bajja bagenda kukunga abantu basobole okugenda ku mutimbagano guno basobole okuzisoma olwo zikyusibwe mu maloboozi ag’enjawulo kiyambe ebyuma bya kompyuta okuzikwata n’okuzitereka.
Minisita w’Obuwangwa Ennono n’Obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male nga y’akiikiridde Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma y’ataddeko omukono ku lw’Obwakabaka ate Prof. Tonny Oyana n’assaako ku lwa Makerere University.