• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda esse omukago naba National Drug Authority okutumbula eddagala ly’Obutonde

Gambuuze by Gambuuze
October 17, 2023
in Amawulire
0 0
0
Buganda esse omukago naba National Drug Authority okutumbula eddagala ly’Obutonde
0
SHARES
80
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa  

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye nekitongole ekirondoola eby’eddagala mu ggwanga ki National Drug Authority (NDA) okutumbula eby’obulamu nga bakozesa eddagala ery’ekinnansi (Herbal).

Omukolo gw’okuteeka emikono ku ndagaano eno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga Minisita w’ebyobulamu mu Bwakabaka, Owek. Cotilida Nakate Kikomeko yataddeko omukono kulwa Buganda ate Ssaabawandiisi w’ekitongole Dr. David Nahamya nateekako kulwa NDA.

 Bw’abadde ajulira  omukwano guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti mukulu nnyo kuba buli omu amanyi obukulu bw’ensonga y’ebyobulamu kuba esimba butereevu mu ddagala nenkozesa yalyo.

Owek. Mayiga agambye nti waliwo ekizibu mu  Uganda kuba abantu bangi baagala okwejjanjaba nga tebatuuse mu bakugu kuba abasinga bakoma mu budduuka obutunda eddagala nawera okukwatagana n’ekitongole kino okukomya omuze guno.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, omukago guno gujja kuyamba okutumbula eddagala ery’obutonde kuba liwonya nga lyetaaga kulung’amya n’okuggyaawo obwebindu abasawo ab’ekinnaansi bwebateekawo awamu n’okuliteekako amaanyi g’empewo.

Owek. Mayiga era asabye bano okukwatagana ne Buganda mu nteekateeka z’okuzzaawo ebibira n’okukuuma obutonde bwensi n’okufuna eddagala eriyamba okujjanjaba endwadde ez’enjawulo.

Ye Minisita w’Eby’obulamu mu Bwakabaka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko ategeezezza nti basuubira omukago guno okuyamba okutumbula okukola n’okukozesa eddagala ly’obutonde mu ngeri etuukiridde.

Owek. Nakate annyonnyodde nti  bakukwatagana ne minisitule ez’enjawulo mu Bwabakabaka okuggyayo obulungi ebiruubirirwa by’omukago guno okusobola okuteeka ensonga eno ku mutindo.

Akulira Bboodi y’ekitongole ki National Drug Authority, Dr. Bitekyerezo Medard agambye nti babadde bakolagana n’Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo naddala ku ngeri eddagala linaasangwa gyerisobola okukozesebwamu naye kati basazeewo enkolagana eno ebeere mu butongole.

Dr. Bitekyerezo agasseeko nti baagala okulaba ng’omutindo gw’eddagala ly’obutonde gutumbulwa era bangi ku bannayuganda eddagala lino baatandika okulikola nga balitunda n’ebweru w’eggwanga.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ab’enjawulo n’abakungu b’ebitongole mu Bwabakabaka awamu n’abakugu okuva mu kitongole ki NDA.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist