Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kyabwe ekikwanaganya bannamikago ekya Buganda Investments and Cultural Undertakings, busse omukago n’ekitongole kya Healthy Hearts Foundation n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obulwadde bw’omutima.
Bw’abadde atongoza omukago guno ku mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange, Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okusoosowaza eby’obulamu kibasobozese okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Abasabye okukuuma obulamu nga bulamu bakiteeke ku lukalala lw’ebigendererwa byabwe.
Mukuumaddamula ategeezezza nti abantu basaanidde okukola ebyo ebisobozesa emitima gyabwe okusigala nga miramu ng’okwewala okulya ebisiike mu bungi n’ennyama ensava, okunywa omwenge oguyitiridde ne ssigala ate bakole dduyiro kubanga omutima gwamugaso nnyo eri obulamu.
“Omutima si ky’ekintu kyokka ekyomugaso mu mubiri naye ate bwegutaba mulamu ebitundu by’omubiri ebirala bifeeba.” Katikkiro bwe yategeezezza.
Owoomumbuga yeebazizza ekitongole kya Healthy Hearts Foundation olw’okulafuubana okulaba ng’abantu bawangaala n’emitima emiramu ate ne kiwa n’abantu amagezi agakisobozesa okutuukirira era n’asaba abantu bagagoberere. Katikkiro akikkaatirizza nti singa abantu babeera balamu bajja kusobola okuzza Buganda ku ntikko kubanga ensonga Ssemasonga ey’okukola obutaweera bajja kuba basobola okugikwata kannabwala.
Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, y’ataddeko omukono ku ndagaano eno ku lw’Obwakabaka, ate Owek. Ritah Namyalo era nga ye Ssenkulu wa Healthy Hearts Foundation n’assaako ku lw’ekitongole ekyo.