Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Obwakabaka busse omukago ne Uganda okulwanyisa Mukenenya mu Buganda awamu n’okwongera okumanyisa abantu ba Beene ku kirwadde kino.
Omukolo gw’okuteeka emikono ku ndagaano gubadde mu Bulange-Mmengo nga Minisita w’ebyobulamu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma y’ataddeko omukono ku lw’Obwakabaka ate Enid Wamani n’assaako ku lwa Uganda AIDS Commission.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti ekisinga obukulu mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya, kwe kubeera n’amawulire amatuufu n’awa eky’okulabirako nti wadde eddagala erinafuya akawuka kano gyeriri ate nga lya bwereere, naye abantu abasinga mu byalo tebakimanyi.
“Twetaaga amawulire amatuufu abalina akawuka baleme kulowooza nti ebyabwe bikomye kuba okukwatibwa Mukenenya si y’enkomerero y’ensi. Tulabye abantu abakwatibwa Mukenenya naye ne bawangaala nnyo n’okusinga abantu abalala.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono agamba nti singa ebintu abalina akawuka babiraba mu butuufu bwabyo nga basinziira ku mawulire amatuufu era ne beewala okweraliikirira n’okuyongobera, baba basobola bulungi okutwala obulamu bwabwe mu maaso nga bamanya emmere esaanidde okuliibwa kuba omubiri kye ky’okulwanyisa ekikulu omuntu ky’aba nakyo ng’azuuliddwamu ekirwadde kyonna.
Mukuumaddamula Mayiga ategeezezza nti ensi esaanye okumanya nti okusonga ennwe mu balina ekirwadde kino kya bulabe, kuba abakikola tebalina kye bafunamu. Bw’atyo n’awera nti nga Buganda bajja kubunyisa amawulire amatuufu ku Mukenenya nga beeyambise ennono za Buganda nga bassenga ne bakojja nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ono asabye abantu okusoosowaza ebyobulamu era bafeeyo ku maka gaabwe, kibayambe okulwanyisa ekirwadde kino n’okwekuuma.
Ate ye Minisita Nankindu Kavuma annyonnyodde nga Minisitule gy’akulembera bw’egenda okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya era ng’akakasa nti endagaano eno ejjidde mu kaseera katuufu.
Ataddeko omukono ku lwa Uganda Aids Commission, Enid Wamani ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka yasiima okukulemberamu olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya mu baami, nga babadde balina okujja okwebaza Nnyinimu wamu n’okwongera okumusaba ayongere okukunga abantu be balwanyisa ekirwadde kino.
Okusinziira ku Wamani, ekirwadde kya Mukenenya kikyali waggulu nga mu ggwanga kisinga mu disitulikiti y’e Kalangala kuba eno buli bantu 100, abantu 18 balina ekirwadde kino. Ebitundu ebirala nga Rakai, Masaka ne Kalungu, nayo ekirwadde kino kingi bw’ogeraageranya n’ebitundu ebirala.
Wamani yeebazizza Obwakabaka olw’omukago guno era n’ategeeza nti nga Uganda Aids Commission, bakkirizza nti bajja kusobola okuwangula ekirwadde kino nga bakolaganidde wamu n’Obwakabaka.