Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Obwakabaka bwa Buganba bufulumizza ekitabo eky’enjawulo ekinayamba ku bayizi abali ku muggalo okusigala nga bagoberera wamu n’okubategeka mu kiseera kino eky’omuggalo nga gavumenti bwemaliriza enteekateeka okuggulawo amasomero.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/adb401f7-a334-49bb-a8ad-de50523c5be1-1024x683.jpg)
Kino kibikuddwa Minisita w’ebyobulamu, embeera z’abantu n’ebyenjigiriza mu Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma bwabadde atongoza ekitabo kino leero ku Lwokubiri e Bulange Mengo mu Kampala.
“Twagenze mu maaso okufulumya ekitabo ekyo nga kyamutindo ogujja mu bwakabaka nga twagala okuyambako abaana baffe,” Minisita Nankindu bwategeezezza
Minisita Nankindu yanyonyodde nti, Obwakabaka buludde mu nsiike y’okutegeka ebigezo bya bayizi okwegezzaamu ku mitendera gyonna okuli; P.7, S.4 ne S.6 era nga akaseera konna ebibuuzo bibadde ku mutindo.
Minisita yagasseeko nti, olukiiiko lu ‘Buganda Examinations Council’ lwalaba obwetaavu bw’okwongera okubangula abaana kuba bangi tebakyamanyi kuwandika, tebakyamanyi kusoma wadde okwanukula ebibuuzo.
“Twagala abaana baffe basobole okwejjukanya ebyo byebasoma kubanga ebya P.7 bitandikira ku P.5, P.6 ne P.7. Omwana owa P.7 talina kusoma bya P.7 byokka atandikira eno nasoma ate nabadde asoma nga ali ewaka nga wa P.5 asobola okutunula mu bya P.6. Ekirungi ebibuuzo bino omwana asobola okwegolola kuba ebiddibwamu gyebiri emabega,” Nankindu bwalambuludde.
Minisita yagambye nti, wadde akatabo kalina kawereddwa emitendera egy’enjawulo naye kisoboka omuyizi okuba nga teyategeera naye nga ewaka alinawo banne abayinza okumuyambako naye akatabo kano kagenda kumugasa.
“Waliwo n’abasomesa abakeetaaga okusobola okuyiga okuteekateeka ebibuuzo kuba ssi buli musomesa nti, muteesiteesi wa bigezo,” Minisita Nankindu bwategeezezza
Nankindu yagambye nti, akatabo kano kasobolera ddala okuyambako n’abazadde okumanya omwana byasoma n’okusobola okumulondoola era nga ekitabo kino kigenda kuyamba omwana mu kaseera kano ak’omuggalo era nebwanabeera azze ku ssomero.
Minisita yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno n’okutandika Buganda Examinations Council era nasaba bannabyabufuzi okukozesa akakisa kano bagulire abayizi obutabo buno kiganyule omuzadde n’omuyizi.
Akatabo kano akatongozeddwa kamaze dda okutuuka mu matundiro g’ebitabo wonna mu Ggwanga era nga katundibwa Silingi omutwalo gumu n’ekitundu (15,000).