Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’obuwangwa, ennono, olulimi, embiri n’ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male ategeezezza nga Buganda bw’ekyayaayanira okufuna enfuga ya Federo, kigiyambe okugabana ku kkeeki y’eggwanga mu bwenkanya.
Bino Owek. Kyewalabye abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne Minisita wa gavumenti erindiridde (Alternative Government) avunaanyizibwa ku biyiiye, ebyemizannyo n’ebyobuwangwa; Omubaka Hillary Kiyaga amusanze mu Bulange e Mmengo ku Mmande okwegeyaamu ku nsonga ezitali zimu.
Owek. Kyewalabye ategeezezza nti beetaaga Federo okukola ku nsonga z’abantu baabwe, olwo gavumenti efune omukisa okwemalira ku nsonga ennene ez’eggwanga lyonna nga ne Buganda mw’eri.
“Buganda ekyayaayanira enfuga eya Federo esobole okuwulira nti egabana ku kkeeke ya Uganda kyenkanyi. Waliwo w’olaba obutali bwenkanya; bw’otunuulira ebibuga ebikoleddwa, Kabaka yamala kusaba, eky’e Masaka ne bakituwa! Bw’otunuulira Munisipaali n’ebibuga ebitondeddwawo, ebyaffe bitono nnyo, ababaka abaffe batono nnyo bw’ogeraageranya n’abalala.” Minisita Kyewalabye bw’agambye.
Ono asabye ababaka okwegatta ku nsonga za Buganda ng’obubondo bw’ebitundu ebirala bwe bukola era bakomye n’omuze gw’okusooka okubuuza ebibiina byabwe we biyimiridde ku nsonga za Buganda.
Owek. Kyewalabye ababaka abasabye bakimanye nti ensonga za Buganda ze nsonga zaabwe awamu n’abantu baabwe, kuba Omutanda ayagala okulaba ng’embeera y’abantu be erongooka buli lukya.
Ono alaze nga bwe baliko olukalala lw’ebifo eby’ennono bye baagala Palamenti ekkirize bifuuke eby’obulambuzi mu ggwanga, kuba byankizo ebisobola okuleeta kuno ensimbi.
Mu kwogera kwe, Dr. Hillary Kiyaga agambye nti okuva lwe yakwasibwa minisitule eno, asanze okusoomoozebwa kungi mu bavubuka naddala bannabitone abeetaaga oukwasizaako n’okulambikibwa okuva mu Bwakabaka.
Kiyaga agambye nti nga Minisita ku ludda oluvuganya agenda kukunga banne okulaba engeri gye basobola okutumbula enteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okutumbula abantu be.