Bya Ssemakula John
Nansana – Kyaddondo
Obwakabaka buwaddeyo ettaka okuzimbako eddwaliro okujjanjaba abantu ba Kabaka mu bitundu bya Munisipaali y’e Nansana n’emiriraano.
Ekyama kino kibikkuddwa omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, bw’abadde atema evvuunike ku lwa Katikkiro Mayiga mu kifo awagenda okuzimbibwa eddwaliro lino. Owek. Waggwa era yabadde omujulizi ku ndagaano eteekeddwako omukono wakati wa Buganda ekiikiriddwa Ssenkulu wa Buganda Land Board, Simon Kaboggoza.
“Ssaabasajja Kabaka yasiimye n’awaayo ettaka eri Rotary y’e Nansana Ttawuni kkanso bazimbeko eddwaliro. Era mu kusiima okwo yasiimye Buganda Land Board egguse ensonga eno.” Owek. Waggwa Nsibirwa bw’agambye.
Owek. Nsibirwa agambye nti ettaka lino liriko akakwakkulizo kakuzimbako ddwaliro era singa bakyusa ne bateekako ekintu ekirala, Beene ettaka ajja kulyeddiza.
Ono yeebazizza aba Rotary olw’okubeera n’omutima omuyambi wadde nga si bagagga nnyo. Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika, alaze okutya ku ngeri ebyobulamu by’abantu abasasula omusolo gye bikwatiddwamu n’asuubiza okukwatizaako bannalotale bano.
Ate ye Pulezidenti wa Rotary e Nansana, Geoffrey Hairora, atenderezza Obwabakaba bwa Buganda olwokulumirirwa abantu ne buwaayo ettaka okugenda eddwaliro amakula.
Okusinziira ku bakungu mu Bwakabaka, ettaka eriweereddwayo libalirirwamu obukadde bwa ssiringi 400 naye olw’okusiima kwa Beene, bano bafunye lya liizi ku bwereere, lisobole okugasa abantu ba Kabaka. Eddwaliro lino lyakumalawo obuwumbi obusoba mu 4.