Bya Ssemakula John
Masengere – Mmengo
Obwakabaka bwongedde okukwatagana n’ekitongole ekirwanirira eddembe ly’abakyala ki FIDA okukendeeza enkayana ku ttaka wamu n’okulaba nga wabaawo obwenkanya.
Bw’abadde ayogera ku nteekateeka eno, Ssenkulu wa Buganda Land Board, Omuk. Simon Kabogozza Muwanga ategeezezza nti ku mulundi guno amaanyi bagenda kugateeka ku kubangula bakyala ku ddembe lyabwe n’ettaka kibayambe okubanyagibwako byabwe mu lukujjukujju.
Omuk. Kabogozza agamba nti emirundi mingi abakyala bebasinga okunnyigirizibwa bwekituula ku nsonga yokugabannya ebintu by’omugenzi naddala singa bba ava mu bulamu bwensi era bwekituuka okugabana ettaka ab’enganda balimalawo awatali kubaako kyebamulekera.
Ono alambise nti omukago guno gujjidde mu kiseera ng’abantu bangi bakyalina obutamanya ku bikwaata ku bwanannyini ku ttaka ekyongedde okuletaawo obutabanguko n’obuvuyo ku ttaka bangi nebatuuka n’okufiirwa obulamu.
Ssenkulu Kabogozza annyonyodde nti baagala okulaba ng’abantu b’enyigira mu nsonga z’enkulaakulana n’okutumbula embeera zaabwe nga beeyambisa ettaka singa endoliito eziririko zinagonjoolwa.
Okusinziira ku amyuka Ssenkulu wa Buganda Land Board, Omuk. Kizito Bashir enteekateeka eno yakutandikira mu Bulemeezi ne Buluuli olwo etambuzibwe mu bitundu by’eggwanga ebirala.
Akulira ekitongole ki FIDA, Lillian Byarugaba Adriko agamba nti bakilabye nga waliwo obwetaavu okubangula abakyala ku nsonga zettaka bakuguke kubanga bangi bazze bannyigirizibwa mu butamannya kwosa nebintu byabwe okutwalibwa.
Omukago guno teguweereddwa bbanga wabula gwakutambula ekiseera kyonna okutuusa ekiruubirwa kino lwekinagukka.