Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bugenda kukwatagana n’eggwanga lya Budaaki nga buyita mu kitebe kyayo wano okusobola okutumbula ebyobulimi awamu n’enkolagana wakati w’amawanga gombi.
Bino bituukiddako mu nsisinkano ebaddewo wakati wa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omubaka wa Budaaki kuno, Dr. Karen Bovin ku Lwokutaano mu mbuga enkulu e Bulange e Mmengo.
“Ekitebe kya Budaaki kifaayo nnyo ku mbeera z’abantu ba Uganda era mubalabye nga beenyigira mu pulojekiti ezitwala ebyobulimi mu maaso kw’ossa n’ekikula ky’abantu awamu n’okukuuma obutonde bw’ensi. Ensisinkano eno ne Ambasada, yaakwongera nkolagana ku nsonga zino kuba ng’Obwakabaka tulina enteekateeka ng’emmwanyi Terimba, Bulungibwansi n’okusimba emiti mu kwanjula n’okwabya ennyimbe.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti enteekateeka zino nkulu mu Bwakabaka kuba, amaka agalina ssente ze gayingiza, gasobola bulungi okulabirira abantu baayo ng’okuweerera abaana n’okulabirira ebyobulamu bwabwe awamu n’okubaliisa obulungi.
Okusinziira ku Mayiga, singa obutonde bw’ensi bulabirirwa bulungi, Uganda ejja kuba esobola okwesigama ku ttaka kuba abasinga omulimu gwe bamanyi kwe kulima.
Katikkiro Mayiga ategeezeza nti enkolagana y’Obwakabaka n’eggwanga lya Budaaki eruubiriddwamu okukulaakulanya abantu ba Buganda n’eggwanga okutwaliza awamu, okuyita mu bulimi n’Obulunzi kubanga Ssaabasajja ayagala abantu be nga bali mu bulamu obweyagaza.
Owek. Mayiga agamba nti Budaaki yeemu ku nsi ezikulaakulanye okuyita mu bulimi n’Obulunzi ng’ebyokuliyigirako nkumu ng’okulimira awatano naddala mu kiseera kino ng’ettaka lyafuuka lya kulwanira.
Omubaka wa Budaaki mu ggwanga Dr. Karen Bovin ategeezeza nti enkolagana yaabwe n’Obwakabaka esuubirwamu bingi era beeteefuteefu okukolaganira awamu okulaba ng’ekiruubirirwa kyayo kigguka.
Oluvannyuma Dr. Karen, Katikkiro Mayiga amulambuzizza ebifo byenkizo mu mbuga okwongera okutegeera n’okuyiga ebifa ku Bwakabaka era amutonedde n’ebirabo ebiwerako.