• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda ekungubagidde Pulezidenti wa UAE

Gambuuze by Gambuuze
May 20, 2022
in Amawulire
0 0
0
Buganda ekungubagidde Pulezidenti wa UAE
0
SHARES
66
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde Pulezidenti wa UAE, Sheikh Khalifa bin Zayed Al Nahyan eyaziikiddwa gyebuvuddeko.

Obubaka obukubagiza bwetikidddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Lw’okutaano bw’abadde agenyiwaddeko ku kitebe kya UAE mu ggwanga ekisangibwa e Kampala okubasaasira nga ayaniriziddwa Ambasada H.E Abdullah Hassan Obaid Hassan Alshamsi.

“Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda ntuusa okusaasaaira eri abantu ba Abu Dhabi ne UAE olw’okufiirwa omukulembeze wabwe Sheikh Khalifa bin Zayed Al Nahyan, enkulaakulana etuuseewo mu UAE etulaga nti Sheikh Khalifah abadde alumirirwa nnyo abantu be, ” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga agambye nti enkola ya Sheikh Khalifa ewa abakulembeze eky’okuyiga bwebaba baagala okuteekawo enkulaakulana n’okukyuusa obulamu bw’abantu be bakulembera.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti Buganda erina enkolagana ensaamusaamu n’ekitongole kya Red Crescent ekiri mu Abu Dhabi nga mu nteekateeka eno bazimbiddemu amalwaliro abiri okuli erye Nsangi ne Kalasa mu Bulemeezi nakakasa nti bakwongera okuginyweza nga bayambibwako Ambasada basobole okusakira abantu ba Kabaka eby’enkulaakulana.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, bw’otunuulira enkulaakulana eri mu UAE kikuwa essuubi nti enkolagana yaayo ne Buganda saako ne Uganda ejja kuganyula abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Ono asiimye Ambasada olw’okubakyaza era n’asaba atuuse obubaka bw’abantu ba Kabaka eri abantu beeyo kuba omukulembeze eyabavudde ku maaso abadde kyakulabirako olw’engeri gyabadde ayambamu abantu.

Share this:

Tags: Charles Peter MayigaH.E Abdullah Hassan Obaid Hassan Alshamsi.Sheikh Khalifa bin Zayed Al Nahyan
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist