
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu n’ekitongole ekirwanirira Obutonde bwensi ki ‘My Tree Initiative’ wamu ne bbanka ya Absa, batongoza enteekateeka mwebagenda okusimbira emiti mu masomero etuumiddwa ‘My Tree Initiative Greening Schools Program.’
Enteekateeka eno etongozeddwa minisita wa Buganda owa Bulungibwansi, Obutonde bwensi, Amazzi n’ekikula ky’abantu Owek. Mariam Nassejje Mayanja Nkalubo ne Minisita w’ebyenguudo n’entambula Gen. Edward Katumba Wamala e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.
Owek. Mayanja akuutidde abantu okutuukiriza ekiragiro kya Kabaka eky’okukuuma obutonde bwensi nga basimba emiti, okwewala okuzimba mu ntobazi n’ebintu ebirala ebisanyaawo obutonde.
Ono asabye ategeezezza nti buli omu alina olubimbi okulaba nti Obutonde bukuumibwa okusobola okutaasa eggwanga okulumbibwa eddungu ekisobola okuteeka bannansi mu buzibu.

Gen. Katumba Wamala asinzidde wano nalaga obwennyamivu olw’obutonde bwensi obususse okwonoonebwa kyagambye nti kyabulabe eri eggwanga.
Ono era ategeezezza nti bo bafunvubidde okukuuma obutonde bwensi nga bayita mu kusimba omuddo ku mabbali g’enguudo era nakoowola abantu okubeegattako nga bayita mu kusimba emiti.
Ye Ssenkulu wa bbanka ya Absa, Mumbwa Kalifungwa awanjagidde abantu okwagala eggwanga lyabwe nga buli akyolekera mu kusimbayo wakiri omuti gumu kitaase obutonde bwensi.
Obwakabaka butegeezezza nti bugenda kuyita mu enteekateeka etongozeddwa busomese abantu okukuuma obutonde bwensi. Enteekateeka eno agenda kutuukirizibwa mu disitulikiti 6 okuli Wakiso, Mubende, Mityana n’endala ng’etandikidde Wakiso ku ssomero lya Highland Secondary School e Kisaasi.









