
Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Omuwanika wa Buganda era Minisita avunaanyizibwa ku byensimbi, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjulidde Olukiiko lwa Buganda nga bwe basobodde okukung’aanya obuwumbi bwa ssiringi obuwerera ddala 70 mu myezi 6 egiyise wadde baali basuubira kufuna obuwumbi 60 mu mbalirira gye baakola.
Owek. Waggwa bino abyogeredde mu Lukiiko lwa Buganda olwa 29, olutuula olusoose olutudde e Bulange -Mmengo ku Mmande n’alaga nti Buganda esobodde okukola amagoba ga bitundu 16% wadde nga wabaddewo okusoomooza kwa Covid-19 mu ggwanga.
“Ssennyiga Corona atukoseza nnyo nga Buganda naye nnina essanyu Owek. Sipiika okubategeeza nti wakati mu bulwadde buno tukoledde ddala bulungi nnyo mu byensimbi mu myezi 6 egisoose era nga bw’ogamba nti twandifunye obuwumbi 60 naye tusinzizzaamu ebitundu 16 ku buli 100. Tuyingizza obuwumbi 70 n’obukadde 54,” Owek. Nsibirwa bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Minisita Nsibirwa bino byonna bituukiddwako olw’okukola obutaweera awamu n’obwerufu obwoleseddwa ebitongole ebyenjawulo mu Bwakabaka.
Ono agamba nti ensimbi zino zivudde mu makubo amakulu 4 omuli; abanywanyi ne Bannamikago b’Obwakabaka ssaako gavumenti eyaawakati, Oluwalo oluleetebwa abantu ba Beene awamu n’amalala.
Omuwanika era amenyeddemenyedde abakiise mu bimu ku bintu ebikoleddwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno nga bakozesa ensimbi zino nga byonna bibadde byetoloolera ku kusitula mbeera z’abantu ba Kabaka awamu n’okutumbula enkulaakulana n’okusembereza abantu obuweereza obw’enjawulo.
Mu bino mu baddemu okuyooyoota Olubiri lw’e Nkoni ne Baamunaanika, ebyayongera okunyweza Nnamulondo nga bayita mu kitongole kya Nkuluze.
Okunyweza n’okuwagira obukulembeze mu bika okuyita mu kuwandiisa abayima. Ebika 12 byamaliriza eddimu lino, 16 bikyali mu kaweefube ate ebika 11 byo tebinnaba.
Abataka baafuna entambula ebayambako, Amasiro g’e Kasubi kaweefube w’okugazzaawo akyatambulira ddala naddala ennyumba ya muzibwazaalampanga enaatera okuggibwako engalo.
Owek. Waggwa Nsibirwa alaze nti mu mwaka gumu gwokka Buganda esomesezza abantu abasukka mu kawumbi akalamba ku nsonga z’ettaka naddala mayiro awamu n’emisomo emirala.
Minisita Nsibirwa ayongedde okulambululira Olukiiko ensaasaanya n’ennyingiza, n’alaga nti omwaka guno Obwakabaka bulina enteekateeka etumbula obuweereza mu gavumenti ez’ebitundu, omuli okuwa abeggombolola obugaali Maanyigakifuba ate n’abaami b’amasaza e 18, Omutanda yasiima ne baweebwa kapyata z’emmotoka ekika kya Harrier zibanguyize okutuuka ku bantu be bakulembera n’okukola emirimo.
Wano ssentebe w’olukiiko olukulembera abaami b’amasaza, Ppookino Jude Muleke asabye Olukiiko luveeyo n’ekiteeso ekisiima Empologoma olw’enteekateeka eno.

Ng’oggyeeko ebyentambula, Obwakabaka butambuza ebyemizannyo wadde wabaddewo okusoomooza kwa Covid-19. Emisinde gyamazaalibwa ga Kabaka ssaako emipiira gy’Amasaza gibaddewo omwaka guno nga kuno kugattiddwako okusoosowaza ebyenjigiriza omubadde okugaba bbasale omutwalo mulamba eri abayizi ku mitendera egy’enjawulo.
Ebyobulimi, Obulunzi, Bulungibwansi n’ebyobusuubuzi bitumbuddwa ssaako okunyweza ebyempuliziganya mu Leediyo CBS ne Terefayina wamu n’ebirala.
Ku by’obulamu, Minisita Nsibirwa agamba nti abantu ba Buganda bagaba omusaayi obutabangawo mu ggwanga nga liita z’omusaayi emitwalo 8 zafunibwa okuva mu masaza 4, Buddu, Kyaddondo, Busiro ne Ssingo.
Ono agasseeko nti okwongera okutumbula ebyobulamu, Omutanda yasiimye amalwaliro 2 gazimbiddwa mu mbalirira eno, omuli Nsangi mu Busiro ne Kalasa mu Bulemeezi. Kisuubirwa amalwaliro gano gajja kutuusa obuweereza eri abantu abasukka 10,000 buli mwezi kubanga bakaaba olwebyobulamu.
Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda basiimye obwerufu obwoleseddwa eggwanika lya Buganda ne gavumenti ya Beene okulwana okukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda.









