
Bya Ssemakula John
Njeru – Kyaggwe
Ttiimu y’essaza lya Buddu ekubye ttiimu ya Mawogola eggoolo 6-1 mu kibinja kya Muganzirwazza mu mupiira ogunyumidde abalabi mu kisaawe kya Fufa Technical Center e Njeru mu Kyaggwe.
Buddu y’esoose okulengera akatimba mu ddakiika ya 33 ng’eyita mu muzannyi Sharif “Diao” Ssengendo wabula mu ddakiika ya 37, Mawogola efunye ggoolo y’ekyenkanyi ng’eyita mu musambi Abdul Kalanzi ne gubeera ggoolo 1- 1. Bwegutyo ne guwummula ekitundu ekisoose mu maliri.
Omusambi wa Buddu, Marvin Kavuma afunidde Buddu ggoolo eyookubiri ne gubeera 1-2, wano Buddu ekoze enkyukyuka ezibadde ez’ensonga n’ereeta omuvubuka Vianney Bukenya okudda mu nnamba ya Isma Lamitara.
Mu ddakiika ya 66, Vianney Bukenya abadde yaakayingizibwa ateebye ggoolo bbiri nnamba ne gudda ku 1-4 okwongera okunyweza obuwanguzi.
Omupiira bwegutuuse mu ddakiika 85, Buddu efunye Penati eteebeddwa omusambi Bruno Bunyaga okuva mu kisobyo ekikoleddwa Fahad Nsamba ne gubeera ggoolo 1-5.
Omuzannyi Brian Omirambe afunidde Buddu ggoolo mu ddakiika ye 89 ne guggwa ggoolo 1-6.
Kino kitegeeza nti Buddu eyiseewo okuva mu kibinja Masengere okuzannya mu mutendera oguddako.









