Bya Yusuf Muwuluzi
Lyantonde – Kabula
Abantu ba Kabaka mu ssaza ly’e Kabula basomeseddwa enkoko z’ekika kya SASSO ez’omulembe basobole okukekereza nga bwe bafuna amagoba mu kutunda amagi awamu n’ennyama.
Omusomo guno gwaleeteddwa aba BUCADEF wamu ne Silvernands abaluza enkoko ekika kya SASSO era nga guyindidde ku Jovial World Motel e Lyantonde. Okubbulula abantu b’Omutanda okuva mu bwavu n’okubakulaakulanya y’emu ku nteekateeka eziri mu Ssemasonga ettaano eziruubirira okuzza Buganda ku ntikko.
Akulira eby’obulimi n’obulunzi mu ssaza lye Kabula, Ggaanya Francis, ye yasase omusomo guno ng’ayitira mu kitongole kya Kabaka ekya BUCADEF wamu ne bannamukago aba Silvernands nga bano be balunza enkoko za SASSO.
Ate ye atwala eby’obulimi n’obulunzi mu BUCADEF, Gerald Kisawuzi, agamba nti basse omukago ne Silvernands oluvannyuma lw’okuzuula nti enkoko zaabwe nnungi ate nga basooka kubangula bantu nga tebannazigula.
Kisawuzi asabye abasomeseddwa okuteeka bye basomye mu nkola, basobole okweggya mu bwavu.
Abakugu ba Silvernands basomesezza abantu endabirira, okuliisa n’endwadde z’enkoko awamu n’okukuuma omutindo gwazo okusobola okuganyulwamu.
Kitunzi wa SASSO, Shamim Nakato, agamba nti enjawulo gye balina ku balala enkoko zino be bazaaluza bokka, kisobozese okukuuma omutindo.
“Enjawulo eri wakati ka Kuloiler ne SASSO kiri nti enkoko za SASSO zaaluzibwa mu kifo kimu ekizisobozesa okukuuma omutindo ogwa F1 Generation. NGA si njozeemu kuba enkoko buli omu w’agyaluzaamu eyonooneka omutindo.” Nakato bw’agambye.
Ye omwami w’essaza Kabula, Lumaama David Luyimbazi Kiyingi, ategeezezza nti baluubirira kuzza Buganda ku ntiko nga bayita mu kukulaakulanya abantu wabula n’asaba abalunda enkoko okwegattira mu bibiina by’obwegassi ebya SACCO basobole okufunamu.
.