Bya Benard Ssengoonzi
Brian Kirumira amanyiddwa ennyo nga Brian white emabega eryali aweereddwa ekitanda mu ddwaliro ly’e Nakasero oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yali aweereddwa obutwa asiibuddwa.
Brian white abadde alina ekirwadde kya alusa ekimusimbuwa era nga oluvannyuma lw’okunywa eddagala addamu natereera wabula nga kumulundi guno embeera teyadda mu nteeko era naatwalibwa mu ddwaliro ly’e Nakasero.
Omusawo mu ddwaliro e Nakasero ategezezza nti ebiva mu kukebera kiki ekyamutuukako tebinnaba kuba bya nkomeredde naategeeza nga bwebakyalinda ebirala ebinaava mu ggwanga lya Bungereza gyebyaweerezebwa.
Newankubadde ng’embeera ya Brian white tenadda munteeko bulungi, akomezeddwawo mu maka ge.
Mu katambi akaateekeddwa ku mukutu gwa YouTube akaakoleddwa omu ku mikwano gya Brian White, Kasuku, kalaga nga Brian white bamuwalula mu kagaali okuva mu mmotoka y’eddwaliro (ambulance) nga ayingizibwa ewuwe era nga n’okwogera kwe kukyali wansi,
Brian white gyebuvuddeko abadde afuuse ekyogerwako mu ggwanga oluvannyuma lw’abawala abangi okuvaayo nebamulumiriza okubakabasanya.