Bya Stephen Kulubasi
Robert Kyagulanyi Ssetamu amanyiddwa nga Bobi Wine era nga ono y’akwatidde ekibiina kya NUP bbendera ku kifo ky’obwapulezidenti, asuubizza okutumbula eby’obujjanjabi mu disitulikiti y’e Namisindwa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/01/ErD-522XMAEpIIm.jpg)
Okwogera bino yasinzidde ku kisaawe e Magale bwe yabadde anoonya akalulu n’agamba mbu amalwaliro mu disitulikiti eno gali mu mbeera eyeeraliikiriza mbu olw’okuba agamu tegaliimu ddagala ekireetera abatuuze obutafuna bujjanjabi bumatiza.
Kyagulanyi yasuubizza okukakasa nti amalwaliro gonna galimu ebyeyagisa awamu n’eddagala singa akwata obuyinza. Yasabye abantu okuvaayo balonde mu bungi ng’ennaku z’omwezi 14 omwezi guno ate balonde ku lw’enkyukakyuka.
Kyagulanyi yamazeewo okutya kw’abalonzi abasuubira nti akalulu kagenda kubbibwa okwetooloola eggwanga bw’abagambye nti alina bannamikago mu America n’ensi endala abatunuulidde akalulu kano n’eriiso ejjogi. Ku Lwokuna akalulu agenda kukanoonyeza Namayigo ate ku Lwokutaano addeyo ku bizinga by’e Kalangala.