Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform era akikwatidde bbendera ku bwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), ategeezezza nti ateekwa buteekwa okuwangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kalulu ka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/bOBI-2.jpg)
Kyagulanyi okwogera bino abadde ku kitebe kya NUP e Kamwokya olwaleero ng’asabira bannakibiina ne bannansi abalala abaafiiridde mu kwekalakaasa okw’ennaku ebiri okwava ku kukwatibwa kwe.
Pulezidenti Yoweri Museveni abadde tannawangulwa emirundi gyonna etaano gy’abadde yeesimbawo mu kalulu, ab’oludda oluvuganya bamulumirizza okukozesa eky’okubeera mu ntebe okwenywereza mu buyinza nga abakolako obutali bwenkanya.
Kyagulanyi eyaakayimbulwa okuva mu kkomera e Nalufenya olw’okumenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona, agamba nti mumalirivu okumamulako Pulezidenti Museveni.
“Museveni atandise okutiribira, era kati agezaako okukuumira bannayuganda mu kutya naye ku luno tetugenda kumuganya. Akalulu kasembedde naye wadde atutulugunya n’okutukolako obutali bwenkanya, mu bwangu tugenda kufuna eddembe lyaffe.” Kyagulanyi bw’agambye.
Bobi Wine agamba nti tewali kigenda kulemesa nkyukakyuka mu ggwanga wadde nga bavuganya nabo bagezaako okukola kyonna okumulemesa okuwangula akalulu kano.
Wabula Pulezidenti Museveni yagambye nti abeekalakaasa baagala kutabangula Uganda era nga bawagirwa abagwira omuli n’abalyi b’ebisiyaga naye n’ategeeza nti tajja kubaganya.
Okwawukanako n’abazze bavuganya Museveni, Kyagulanyi yatandikirawo okutegeeza nga bwe waliwo omukisa gw’okuwangula Museveni mu kalulu singa bannayuganda naddala abavubuka bamulonda mu bungi.
Wabula ku kino, Dr. Kizza Besigye yateegezezza omukutu gwa NTV nti takisuubira nti akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kasobola okulangirira omuntu omulala atali Pulezidenti Museveni.