Bya Ssemakula john
Kampala
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) kitegeezezza nga bwe kitasobola ku linnya kigere ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti w’eggwanga omulonde Yoweri Kaguta Museveni, ogw’okubeerawo wiiki ejja nga May 12 ku kisaawe e Kololo.
Ku Lwokubiri Minisita w’ensonga z’obwapulezidenti, Esther Mbayo, yavaayo n’alaga nga bwe bayise Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) eyakwata ekyokubiri okwetaba ku mukolo gw’okulayiza Pulezidenti w’eggwanga eyawangula akalulu ka 2021.
Ku nsonga eno, omwogezi w’ekibiina kya Nup, Joel Ssennyonyi, agamba nti tebakisuubira kuba tekisoboka nga Bobi Wine okwetaba ku mukolo guno kiba kitegeeza nti akkiriza nti Pulezidenti Museveni yamuwangula mu mazima.
Kinajjukirwa nti, aba NUP bawakanyizaawo ebyava mu kalulu ebyalaga nti Museveni ye yawangula n’obululu obukadde 5.58 ate Kyagulanyi n’afuna obukadde 3 n’emitwalo 48.
Aba NUP bakalambira nti omuntu waabwe, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine akalulu kano ye yakawangula n’ebitundu 54 ku buli 100 era ye Pulezidenti omutuufu alina okulayira, naye NRM ne Museveni obuwanguzi buno baabunyaga wakati mu kulinnyirira eddembe ly’obuntu.