Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti Ensukkulumu esazeewo nti akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, tajja kutanzibwa olw’okuggyayo omusango mw’awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/Bobi-Wine-1.png)
Akawaayiro nnamba 61 mu tteeka lya ‘Presidential Elections Act, 2005 liragira omuntu yenna abeera aggyeeyo omusango okuliyirira abawawaabirwa.
Abalamuzi ba kkooti eno bwe babadde bawa ensala yaabwe mu bujjuvu bonna bakkaanyiza nti okulagira omuwaabi okuliyirira abawawaabirwa kimulemesa okufuna obwenkanya kuba abalala abandyagadde okuwaaba bajja kutya okuwaaba.
“Wadde omusango guno ogw’ebyokulonda tegusobodde kugenda mu maaso kutuuka ku nkomerero yaagwo, gusonze ku nsonga ya demokulaasiya wamu n’obutuufu bw’akalulu akakubwa ak’Obwapulezidenti. Noolwekyo tetulaba nsonga ematiza lwaki eyawaaba omusango guno atanzibw.” Omulamuzi Ezekiel Muhanguzi bwe yasomye ensala eno ku lwa banne omwenda.
Ssaabawolereza wa gavumenti ku lw’abawawaabirwa yasabye kkooti eragire Kyagulanyi asasule olw’enneeyisa ye ng’omusango gugenda mu maaso ekyaweebuula ekitiibwa kya kkooti.
Wabula bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwa Medard Lubega Sseggona bategeezezza nti eky’okuliyirira oludda oluwawaabirwa si kya bwenkanya eri omuntu waabwe.
Abalamuzi bannyonnyodde ku Lwokuna nti wadde etteeka lino ligamba nti omuwaabi anaggyayo omusango ‘ajjanga’ kuliyirira b’awaabidde naye si kya buwaze era kkooti erina obuyinza bwonna okukkiriza oba okugaana omuwaabi okutanzibwa.
Abalamuzi bagamba nti waliwo obwetaavu bw’abantu okwettanira kkooti eno okufuna obwenkanya mu kalulu k’Obwapulezidenti ng’okusasuza Kyagulanyi kijja kulemesa abalala okuzettanira.
Bano balagidde buli ludda okwesasulira ensimbi ze lukozesezza mu musango guno.