• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Bobi Wine:  Lwaki bannayuganda basasulira emisango gya Museveni gye yakola e Congo

Gambuuze by Gambuuze
February 11, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Bobi Wine:  Lwaki bannayuganda basasulira emisango gya Museveni gye yakola e Congo
0
SHARES
45
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti w’ekibiina kya  National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine), agamba nti kyannaku okulaba nti bannayuganda be batikkiddwa omugugu gw’okusasulira emisango gavumenti ya Uganda gye yakola e Congo mu lutalo olwaliyo mu myaka gye 90.

Kyagulanyi okutabuka kiddiridde kkooti y’ensi yonna eya ‘International Court of Justice’ okulagira Uganda okusasula eggwanga lya Congo ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa ddoola 325 (ke kase 1.1) olw’okufiirizibwa eggwanga eryo.

Mu kiwandiiko Kyagulanyi ky’afulumizza ategeezezza nti kinakuwaza okulaba nti okufiirizibwa n’ebikolwa ebyaliyo byaganyula abantu abatono ennyo.

“Kati bannayuganda be balina okwetikka omugugu gw’okusasulirira obunyazi bw’abamu ku bannamagye abaali e Congo.” Ekiwandiiko bwe kigambye.

Bobi Wine agamba tebawakanya nsala ya kkooti eno naye n’alaga okutya nti ebikolwa bino  ze zibadde empisa za Pulezidenti Museveni ewaka ne ku miriraano gy’agenda nga yeefudde agenze okuyamba.

“Museveni yeetaaga kuyimiriza. Buli lwalwa mu buyinza ku kifuba, ajja kwongera okukola ebikolwa bino ku bannayuganda n’amawanga agamuliraanye.” Kyagulanyi bw’agambye.

Kyagulanyi alaze nga NUP bw’esuubizza bulijjo okutambulira ku mateeka munda mu ggwanga awamu n’okussa ekitiibwa mu mateeka g’ensi yonna agalung’amya enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala era bakuume n’eddembe ly’obuntu akaseera konna.

Eggulo gavumenti yavuddeyo ku nsala ya kkooti eno n’etegeeza nti ekiragiro ky’okusasula ssente obukadde bwa ddoola 325 tekyabadde kya bwenkanya.

Mu 2005,  Kkooti y’ensi yonna yasingisa Uganda omusango olw’okulumba ekitundu kya Ituri n’amagye gaayo era n’ewagira n’obubinja obwaliyo wakati mu lutalo olwali lugenda mu maaso mu kitundu kino.

Kkooti yalagira amawanga gombi gatuule gakkiriziganye ku ngassi Uganda gye yalina okusaula wabula mu 2005 Congo n’etegeeza ng’enteeseganya bwe zaali zigudde obutaka olw’okulemwa okukkaanya ku muwendo kuba Congo yali esabye erinyirirwe ssente eziwera obuwumbi bwa ddoola 11 bulamba olw’ebyo ebyagikolebwako nga Uganda erumbye ekitundu kya Ituri.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist