Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine), agamba nti kyannaku okulaba nti bannayuganda be batikkiddwa omugugu gw’okusasulira emisango gavumenti ya Uganda gye yakola e Congo mu lutalo olwaliyo mu myaka gye 90.
Kyagulanyi okutabuka kiddiridde kkooti y’ensi yonna eya ‘International Court of Justice’ okulagira Uganda okusasula eggwanga lya Congo ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa ddoola 325 (ke kase 1.1) olw’okufiirizibwa eggwanga eryo.
Mu kiwandiiko Kyagulanyi ky’afulumizza ategeezezza nti kinakuwaza okulaba nti okufiirizibwa n’ebikolwa ebyaliyo byaganyula abantu abatono ennyo.
“Kati bannayuganda be balina okwetikka omugugu gw’okusasulirira obunyazi bw’abamu ku bannamagye abaali e Congo.” Ekiwandiiko bwe kigambye.
Bobi Wine agamba tebawakanya nsala ya kkooti eno naye n’alaga okutya nti ebikolwa bino ze zibadde empisa za Pulezidenti Museveni ewaka ne ku miriraano gy’agenda nga yeefudde agenze okuyamba.
“Museveni yeetaaga kuyimiriza. Buli lwalwa mu buyinza ku kifuba, ajja kwongera okukola ebikolwa bino ku bannayuganda n’amawanga agamuliraanye.” Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi alaze nga NUP bw’esuubizza bulijjo okutambulira ku mateeka munda mu ggwanga awamu n’okussa ekitiibwa mu mateeka g’ensi yonna agalung’amya enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala era bakuume n’eddembe ly’obuntu akaseera konna.
Eggulo gavumenti yavuddeyo ku nsala ya kkooti eno n’etegeeza nti ekiragiro ky’okusasula ssente obukadde bwa ddoola 325 tekyabadde kya bwenkanya.
Mu 2005, Kkooti y’ensi yonna yasingisa Uganda omusango olw’okulumba ekitundu kya Ituri n’amagye gaayo era n’ewagira n’obubinja obwaliyo wakati mu lutalo olwali lugenda mu maaso mu kitundu kino.
Kkooti yalagira amawanga gombi gatuule gakkiriziganye ku ngassi Uganda gye yalina okusaula wabula mu 2005 Congo n’etegeeza ng’enteeseganya bwe zaali zigudde obutaka olw’okulemwa okukkaanya ku muwendo kuba Congo yali esabye erinyirirwe ssente eziwera obuwumbi bwa ddoola 11 bulamba olw’ebyo ebyagikolebwako nga Uganda erumbye ekitundu kya Ituri.