Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, akungubagidde abadde omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj Gen. Paul Lokech, gw’ayogeddeko ng’omujaasi omulungi eyandibadde ekyokulabirako wabula n’ayonoonebwa Pulezidenti Yoweri Museveni.
Bobi Wine obubaka buno yabuyisizza ku mutimbagano oluvannyuma lw’amawulire g’okufa kwa Gen. Lokech okusaanikira eggwanga nga kyategeerekese nti kwavudde ku kwetukuta kw’omusaayi ogwatambudde ne guzibikira amawuggwe.
“Gen. Lokech abadde muvumu era omujaasi eyeegombesa. Bamwogeddeko bingi ng’omujaasi abadde omuvumu mu ntalo ez’enjawulo. Banne bamwogeddeko ng’omuduumizi eyalumbanga wali wennyini emmundu we tokotera ekyateekanga obulamu bwe mu matigga. Ebyembi Museveni tayonoonye ggwanga lyaffe lyokka naye n’abasajja abeerinnya era abamanyi nga Lokech.” Bw’atyo Kyagulanyi bw’agambye.
Kyagulanyi agamba nti kya nnaku okulaba ng’omusajja nga Lokech yakkiriza akozesebwe okulinnyirira eddembe ly’obuntu ng’agoberera ebiragiro bya Pulezidenti Museveni.
“Gen. Museveni, yatya okumukuba akalulu, era ffenna tumanyi engeri gye yali ategese okubba akalulu. Yaleeta Gen. Lokech okwang’anga munnayuganda yenna eyali yeetegese okuwakanya ebyava mu kalulu, ekintu ekyalinnyirira demokulaasiya.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Bobi Wine era asinzidde wano ne yeemulugunya ku ngeri abanene mu ggwanga gye bazze bafamu mu myaka egiyise nga n’abamu ku bo alipoota ezira ekituufu ekyabatta n’okutuusa kati tezifulumanga.
“N’okutuusa leero, bangi bafudde ne batulekera ebibuuzo era ono y’omu ku bo. Nina obubaka eri abapoliisi n’abajaasi abakyali abalamu. Mbasaba okuyigira ku kino ekyaguddewo. Olunaku lumu ffenna tugenda kufa era kye tujja okuleka emabega gy’emirimu gye twakola.” Kyagulanyi bw’alabudde.