Bya Nyanzi Timothy
Kamwokya
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/Unity-Platform-Party.jpg)
Eyali ssentebe w’ekibiina ki ‘National Unity Reconciliation and Development party (NURP) ekyafuuka National Unity Party (NUP)Moses Nkonge Kibalama, yawakkanyiza abeeyita abakulembeze baakyo nebawakkanya okukikyuusa erinnya, n’okukiwa omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine).
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde e Kamwokya, Kibalama yategeezezza nga bano okuli Lilian Odinga ne Edward Sseremba bwatabamanyi nga abakulembeze baakyo.
Yagasseeko nti balina olukalala lw’abantu abawera emitwala etaano nga bamemba naye amannya gabo waggulu tegalimu era abuusabuusa okuba nga balina kaadi y’ekibiina kino.
Kibalama yagambye nti obwa memba bwa Kyagulanyi mu kibiina kyeyali akulembera buli mu makubo matuufu kubanga yayingira mu 2019 era nga tewali tteeka lyamenyebwa nga bamukwasa obukulembeze bwakyo.
Ye omwogezi w’ekibiina ki NUP Joel Senyonyi akukkulumidde poliisi olw’okubasosola n’okulemesanga Omubaka Kyagulanyi okwogerera ku mikutu gya leediyo gyaba ayitiddwa okukubaganya ebirowoozo.
Kinajjukirwa nti, Odinga ne Sseremba bawandikira akakiiko k’ebyokulonda nga bayita mu munnamateeka James Byamukama nga bawakkanya engeri Omubaka Kyagulanyi gyeyafunamu ekibiina kino, gyebagamba nti yalimu ebirumira.