Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, alabudde Pulezidenti Museveni ku by’okuyingiza amagye mu buli kimu, ky’agamba nti kyabulabe.
Bobi Wine agamba nti Museveni aludde ng’avumirira obukulembeze bwa Idi Amin olw’okufugira eggwanga ku biragiro mu kifo ky’amateeka kyokka enkola eno naye gy’akoze, ekiraga nti tassa kitiibwa mu mateeka.
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okulagira ebitongole eby’enjawulo okukwatagana n’eggye lya UPDF era baliwe obuvunaanyizibwa singa babaako bye baagala okuzimba n’okuddaabiriza.
Mu buufu buno, ekitongole kya Uganda National Roads Authority (UNRA) kyakoze endagaano n’ekitongole kya National Enterprise Corporation (NEC), nga kino kya ggye lya UPDF okubaako enguudo ze bakola n’okuddaabiriza endala.
Mu nguudo zino kuliko olwa; Olwiyo – Pakwach Road (62km), Ngoma – Kyankanzi (15km), Ngoma – Kasozi – Kyamukanda (42km), Luku – Kalangala (31km), ne Kalangala – Mbalabana (35km).
“Gen. Museveni takyasobola kukweka kya bwannakyemalira. Ono yalagidde mukyala we ne baminisita abalala kontulakiti zonna ez’okuzimba baziwe UPDF nga yeekwese mu ky’okulaba nti ziggweera mu budde obutuufu.” Bobi bw’ategeezezza ng’ayita mu kiwandiiko ky’afulumizza ku Mmande.
Kyagulanyi agamba nti mu nsi etambulira ku mateeka, Pulezidenti bw’aba ayagala okukola kino alina kuyita mu makubo agagoberera amateeka so si kuyisa kiragiro.
Ono annyonnyodde ekireesezza Museveni amagye mu nzirukanya z’ebitongole ne Minisitule ez’enjawulo kwe kulaba nti, ebigendererwa bye bituukirizibwa naddala ebyo by’alowooza nti amateeka gandimukugidde.
Awadde eky’okulabirako kya kkooti y’amagye, Museveni gy’asibira abo bonna abamuwakanya ku biragiro bye awatali kugoberera mateeka.
“Okuteeka ab’enganda ze mu bifo ebinene mu magye era n’okulaba nti be bakulira pulojekiti ez’enjawulo nga Operation Wealth Creation (OWC) si nsobi. Museveni alowooza nti okuyingiza amagye mu buli kimu kijja mukuumira mu buyinza n’okwongera omugaggawaza naye kino kigenda kumukolera akaseera katono era kijja kuggweera mu maziga.” Kyagulanyi bw’agasseeko.