Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform(NUP), Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ategeezezza nti ettemu erikolebwa ab’ebijambiya mu Buddu liraga nga gavumenti bw’eremeddwa okukuuma abantu baayo.
Bino Kyagulanyi abyogedde oluvannyuma lw’omuwendo gw’abantu abaakattibwa okuwera abantu 32 mu bbanga lya wiiki 5 okusinziira ku Poliisi.
Wadde ab’ebyokwerinda bagezezaako okulawuna ekitundu kino mu kiro okunyweza eby’okwerinda, naye Kyagulanyi agamba nti nabo bennyini tebamanyi kigenda mu maaso era tebamanyi ngeri yaakukwatamu mbeera eno.
“Kikwasa ensonyi okulaba nti abatemu bano okusinga balumba bakadde era nga tebalina kye batwala okuggyako obulamu bw’oyo gwe balumbye.” Kyagulanyi bw’ategeezezza mu kiwandiiko.
Bobi Wine annyonnyodde nti mu bbanga lya myaka ebiri egiyise, Pulezidenti Museveni yalabikira ku ntimbe za ttivvi n’alaga nga bwe yali amazeewo abatemu b’ebijambiya abaali batigomya bannamasaka mu ngeri yeemu mu mwaka gwa 2018.
Mu kwogera Pulezidenti Museveni yategeeza ng’obutemu buno bwe bwali bukuliddwamu Galiwango awamu ne Kiddawalime naye bano yali abalinnye ku nfeete.
Mu June w’omwaka 2021, Museveni yalaga ensi omukazi Nakyambadde eyasobola okusimattuka ab’ebijambiya era okukkakkana nga Kiddawaline naye afiiridde mu bulumbaganyi.
“Bwe kiba nga gavumenti yagezaako okugula obuganzi eri bannansi ng’ebawa essuubi ery’obulimba n’okulaga nti abatemu bakwatiddwa nga mu butuufu yali tebalina oba tugambe ng’ebakwese, esaana eveeyo ku ttemu lino.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Ono bannabuddu abawadde amagezi basigale bulindaala era basale amagezi okwekuuma kuba gavumenti erabika eremeddwa era kati bakimanye nti bali ku lwabwe.