Bya Ssemakula John
Kampala
Bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya mu ggwanga okuli; Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne Dr. Kizza Besigye, basindise obubaka obuyozaayoz munnaabwe Hakainde Hichilema eyawangudde obwapulezidenti bwa Zambia mu kulonda okwabaddewo ku Lwokuna.
Okusinziira ku bano, okulondebwa kwa Hichilema kabonero kanene ku nkulaakulana ya Demokulaasiya mu ggwanga.
Kino kiddiridde abakulembeze naddala ku ludda oluvuganya okuyozaayoza Hakainde Hichilema eyamezze Edgar Lungu.
Hichilema yalangiriddwa ku Mmande oluvannyuma lw’okuwangula Lungu ku 2,810,777 ate Lungu n’afuna obululu 1,814,201. Guno gwe gubadde omulundi ogwomukaaga nga Hichilema avuganya ku bwapulezidenti.
Kyagulanyi Ssentamu agamba nti obuwanguzi obwavudde e Zambia si bwa ggwanga lino lyokka wabula Ssemazinga Afirika awamu n’okubukala kwa Demokulaasiya.
Mu ngeri yeemu Dr. Kizza Besigye nga naye azze avuganya ku bwapulezidenti efunda eziwera, yayozaayozezza Hichilema n’abantu b’eggwanga lya Zambia olw’obuwanguzi buno.
Era n’akulira oludda oluvuganya e Tanzania, Zitto Kabwe agambye nti Zambia eraze ensi w’etuuse mu nkulaakulana kwa demokulaasiya nga bakyusa obuyinza mu Mirembe.
Nelson Chamisa, akulira oludda oluvuganya e Zimbabwe yalaze essanyu olw’ekyo Zambia ky’etuuseeko.
Mu buufu bwebumu akulira oludda oluvuganya e Kenya, Raila Odinga agamba nti abantu b’e Zambia bawanise bbendera ya Afirika oluvannyuma lw’okulonda mu Mirembe.