Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti bafunye amawulire ng’alina bbendera ya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine bw’ategeka okwekweka mu kimu ku bitebe by’amawanga g’ebweru ng’amaze okulonda ku Lwokuna agambe abantu nti awambiddwa ng’ayagala beekalakaase.
Bino Enanga abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwayitiddwa abakulu mu by’okwerinda olutudde ku makya ga leero ku Lwokubiri.
“Tufunye amawulire ageesigika nti Robert Kyagulanyi ayagala kwekweka mu bitebe by’amawanga g’ebweru ng’amaze okulonda olwo asaasaanye amawulire nti awambiddwa kiveeko okwekalakaasa, era ono tumulabudde.” Enanga bw’agambye.
Ennanga era alabudde bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) okwewala okwetaba mu buzannyo nga buno.
Ono era annyonnyodde nti bafunye amawulire nga bwe waliwo abavubuka abaagala okwokya ebipiira ku lunaku lw’okulonda olwo batabangule emirembe naye n’alabula nti abapoliisi weebali singa bano bagezaako okukola kino.
Enanga era ategeezezza nti tebagenda kukkiriza muntu yenna kugenda walonderwa ng’ayambadde langi z’ekibiina ku lunaku lw’okulonda kuba era waliwo olukwe aba NUP okukola effujjo nga bambadde langi za kiragala.
“Tewali akkirizibwa kwambala langi za kibiina kyonna kuba abapoliisi baffe tebajja kumukkiriza era bajja kumukwata. Abalina okutunuulira okulonda kuno ku njuyi ez’enjawulo basabiddwa obutakubira bantu baabwe kkampeyini mu bifo ewalonderwa.” Enanga bw’agasseeko.
Bino we bijjidde ng’eggwanga lyetegeka okulonda ku lunaku Lwokuna era ng’ono agumizza bamusigansimbi n’abagwira obuteeraliikirira kuba okulonda kwe kwa bulijjo era nga kugenda kubeera kwa mirembe.